ESSUULA 1
“Yakuwa Katonda Wo Gw’olina Okusinza”
OMULAMWA: Ensonga lwaki kyetaagisa okuzzaawo okusinza okulongoofu
1, 2. Yesu atuuka atya okuba mu ddungu ly’e Buyudaaya mu mwaka gwa 29 E.E., era kiki ekibaawo ng’ali eyo? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OMWAKA gwa 29 E.E., omwezi gwa Ssebutemba oba Okitobba, era Yesu ali mu ddungu ly’e Buyudaaya, ebukiikakkono w’Ennyanja Enfu. Omwoyo omutukuvu gwe gwamuleeta mu kifo kino oluvannyuma lw’okubatizibwa n’okufukibwako omwoyo omutukuvu. Mu ddungu lino erijjudde enjazi n’enkonko, Yesu amazeemu ennaku 40, ng’asiiba, ng’asaba, era ng’afumiitiriza. Oboolyawo mu bbanga eryo Yakuwa ayogeddeko naye okumuyamba okweteekerateekera ebijja mu maaso.
2 Kati nga Yesu enjala emuluma nnyo era ng’anafuye, Sitaani ajja w’ali. Ebyo ebiddirira birina ekintu ekikulu ennyo kye biraga ekikwata ku abo bonna abaagala okusinza okulongoofu, nga naawe mw’oli.
“Bw’Oba ng’Oli Mwana wa Katonda . . .”
3, 4. (a) Bigambo ki Sitaani bye yatandika nabyo mu bikemo ebibiri ebyasooka, era kiki kye yali agezaako okuleetera Yesu okulowooza? (b) Sitaani akozesa atya obukodyo obufaananako obwo leero?
3 Soma Matayo 4:1-7. Mu bikemo ebibiri Sitaani bye yasooka okuleetera Yesu, yatandika n’ebigambo ebirina amakulu amakusike. Yamugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda.” Sitaani yali abuusabuusa nti Yesu Mwana wa Katonda? Nedda. Malayika oyo eyajeemera Katonda yali akimanyi bulungi nti Yesu ye Mwana wa Katonda omubereberye. (Bak. 1:15) Sitaani era yali amanyi bulungi ebigambo Yakuwa bye yayogera nga Yesu abatizibwa, bwe yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Mat. 3:17) Sitaani ayinza okuba nga yali ayagala Yesu atandike okubuusabuusa obanga ddala Kitaawe yali yeesigika era obanga yali amufaako. Mu kikemo ekyasooka, Sitaani bwe yagamba Yesu okufuula amayinja emmere, yali ng’amugamba nti: ‘Bwe kiba nti oli Mwana wa Katonda, lwaki Kitaawo takuwa mmere ng’oli mu ddungu lino eritaliimu kantu konna?’ Mu kikemo eky’okubiri, Sitaani bwe yagamba Yesu okubuuka okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu, yali ng’amugamba nti: ‘Bwe kiba nti oli Mwana wa Katonda, teweesiga Kitaawo nti ajja kukukuuma?’
4 Ne leero Sitaani akozesa obukodyo obufaananako bwe butyo. (2 Kol. 2:11) Sitaani agera ekiseera ng’abaweereza ba Yakuwa banafuye oba nga baweddemu amaanyi n’abalumba, era emirundi mingi akozesa engeri enneekusifu. (2 Kol. 11:14) Agezaako okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tatwagala era nti tasiima bye tukola. Ate era agezaako okutuleetera okulowooza nti Yakuwa teyeesigika era nti ebyo bye yasuubiza mu Kigambo kye tajja kubituukiriza. Naye obwo bulimba bwennyini. (Yok. 8:44) Tuyinza tutya okumuziyiza?
5. Yesu yaddamu atya Sitaani mu bikemo ebibiri ebyasooka?
5 Lowooza ku ebyo Yesu bye yaddamu Sitaani mu bikemo ebibiri ebyasooka. Yesu teyaliimu kubuusabuusa kwonna nti Kitaawe amwagala, era yali yeesigira ddala Kitaawe. Amangu ddala, Yesu yayanukula Sitaani ng’ajuliza ebigambo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Ebyawandiikibwa Yesu bye yajuliza birimu erinnya lya Katonda, Yakuwa. (Ma. 6:16; 8:3) Mu kukozesa erinnya lya Katonda, Yesu yakiraga nti yali yeesigira ddala Kitaawe, kubanga erinnya Yakuwa likakasa nti Katonda atuukiriza byonna by’asuubiza.a
6, 7. Tuyinza tutya okwewala okugwa mu butego bwa Sitaani obwekusifu?
6 Tusobola okwewala okugwa mu butego bwa Sitaani obwekusifu nga tukozesa Ekigambo kya Katonda era nga tufumiitiriza ku makulu g’erinnya lya Katonda. Bwe tufumiitiriza ku ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku kwagala Yakuwa kw’alina eri abaweereza be ne ku ngeri gy’abafaako, nga mw’otwalidde n’abo abaweddemu amaanyi, kijja kutuyamba okukiraba nti Sitaani mulimba bw’agamba nti Yakuwa tasobola kutwagala oba nti tetusobola kumusanyusa. (Zab. 34:18; 1 Peet. 5:8) Ate era bwe tukijjukira nti bulijjo Yakuwa atuukana n’amakulu g’erinnya lye, tujja kumwesigira ddala.—Nge. 3:5, 6.
7 Naye kiruubirirwa ki Sitaani ky’alina? Kiki ddala ky’atwagalako? Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo Sitaani bye yagamba Yesu mu kikemo eky’okusatu.
‘Vvunnama Onsinze’
8. Mu kikemo eky’okusatu, Sitaani yayoleka atya ekyo kyennyini kye yali ayagala?
8 Soma Matayo 4:8-11. Mu kikemo eky’okusatu, Sitaani yayoleka kaati kye yali ayagala. Sitaani yalaga Yesu (oboolyawo mu kwolesebwa) “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo”—kyokka teyamulaga bintu bibi ebibulimu. Oluvannyuma yagamba Yesu nti: “Ebintu bino byonna nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.”b Sitaani yali ayagala kusinzibwa! Sitaani yali ayagala Yesu ave ku Kitaawe atandike kusinza ye. Okuyitira mu kikemo ekyo, Sitaani yali ayagala Yesu akitwale nti yandisobodde okufuna obuyinza n’eby’obugagga byonna ebiri mu mawanga awatali kutegana kwonna oba kuyita mu kubonaabona kwa ngeri yonna, kwe kugamba, teyandyambaziddwa ngule ya maggwa, teyandikubiddwa, era nti teyandiwanikiddwa ku muti. Ekyo kyali kikemo kya maanyi. Yesu teyabuusabuusa nti Sitaani y’alina obuyinza ku gavumenti z’ensi! (Yok. 12:31; 1 Yok. 5:19) Sitaani yali mumalirivu okuwa Yesu ekintu kyonna okusobola okumuggya ku kusinza okulongoofu.
9. (a) Kiki Sitaani ky’ayagala abo abali mu kusinza okw’amazima bakole, era agezaako atya okutukema? (b) Okusinza kwaffe kuzingiramu ki? (Laba akasanduuko “Okusinza Kye Ki?”)
9 Ne leero Sitaani ayagala tumusinze, mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu. Olw’okuba Sitaani ye “katonda w’ensi eno,” abantu bonna abali mu Babulooni Ekinene, kwe kugamba, mu madiini gonna ag’obulimba, basinza ye. (2 Kol. 4:4) Wadde ng’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali mu madiini ag’obulimba basinza Sitaani, si mumativu. Ayagala n’abo abali mu ddiini ey’amazima bakole by’ayagala. Agezaako okutusendasenda twemalire ku kunoonya eby’obugagga n’ebitiibwa by’ensi mu kifo ky’okuba mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda obuyinza okuzingiramu okubonaabona “olw’okukola eby’obutuukirivu.” (1 Peet. 3:14) Bwe tutwalirizibwa ebikemo ne tuva mu kusinza okulongoofu ne twegatta ku nsi ya Sitaani, tuba ng’abavvunnamidde Sitaani okumusinza, nga tumufudde katonda waffe. Ekyo tuyinza tutya okukyewala?
10. Yesu yaddamu atya Sitaani mu kikemo eky’okusatu, era lwaki?
10 Weetegereze ebyo Yesu bye yaddamu Sitaani mu kikemo eky’okusatu. Yesu yakiraga nti mwesigwa eri Yakuwa, bwe yaddamu amangu ddala nti: “Vaawo genda Sitaani!” Nga bwe yakola nga Sitaani amukemye emirundi ebiri egyasooka, ne ku mulundi guno Yesu yajuliza ebigambo ebiri mu Ekyamateeka ebirimu erinnya lya Katonda. Yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.’” (Mat. 4:10; Ma. 6:13) Bwe kityo, Yesu teyakkiriza kutwalirizibwa bitiibwa bya nsi eby’akaseera obuseera n’obulamu obutaliimu kubonaabona. Yali akimanyi nti Kitaawe yekka y’alina okusinzibwa era nti ne bwe yandisinzizzaako Sitaani omulundi gumu gwokka, kyandibadde kiraga nti Sitaani ye katonda we. Yesu yali mumalirivu obutafuula Sitaani katonda we. Yesu bwe yagaana okukola ekyo Omulyolyomi kye yamugamba okukola, ‘Omulyolyomi yamuleka.’c
11. Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okuziyiza Sitaani n’ebikemo bye?
11 Tusobola okuziyiza Sitaani n’ebikemo ebiri mu nsi ye embi kubanga, okufaananako Yesu, naffe tuli ba ddembe okulondawo kye twagala. Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo. N’olwekyo tewali n’omu, k’abe Omukemi omukulu Sitaani, ayinza okutukaka okuva ku kusinza okulongoofu. Bwe ‘tuziyiza Sitaani nga tuli banywevu mu kukkiriza,’ tuba ng’abagamba nti: “Vaawo genda Sitaani!” (1 Peet. 5:9) Kijjukire nti Yesu bwe yaziyiza Sitaani, Sitaani yamuleka. Mu ngeri y’emu naffe Bayibuli etugamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”—Yak. 4:7.
Omulabe w’Okusinza Okulongoofu
12. Mu lusuku Edeni, Sitaani yakyoleka atya nti mulabe wa kusinza okulongoofu?
12 Mu kikemo eky’okusatu, Sitaani yakyoleka kaati nti ye mulabe w’okusinza okulongoofu eyasooka. Mu lusuku Edeni, Sitaani gye yasookera okukiraga nti mulabe wa kusinza okulongoofu. Bwe yasendasenda Kaawa, era ne Kaawa n’asendasenda Adamu okujeemera ekiragiro kya Yakuwa, Sitaani yabateeka wansi w’obuyinza bwe era n’aba nga y’abafuga. (Soma Olubereberye 3:1-5; 2 Kol. 11:3; Kub. 12:9) Mu ngeri eyo, Sitaani yafuuka katonda waabwe era baali basinza ye, wadde nga bo baali tebakimanyi. Ate era Sitaani bwe yatandikawo obujeemu mu Edeni, teyakoma ku kuwakanya bufuzi bwa Yakuwa, oba kuleetawo kubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga, naye era yaggulawo n’olutalo ku kusinza okulongoofu. Mu ngeri ki?
13. Kakwate ki akaliwo wakati w’okusinza okulongoofu n’ensonga ekwata ku ani agwanidde okufuga obutonde bwonna?
13 Okubuusabuusa kwe yaleetawo okukwata ku ani agwanidde okufuga obutonde bwonna kwali kuzingiramu okusinza okulongoofu. Katonda Omufuzi w’obutonde bwonna, ‘eyatonda ebintu byonna,’ ye yekka agwanidde okusinzibwa. (Kub. 4:11) Yakuwa yatonda Adamu ne Kaawa nga batuukiridde n’abateeka mu lusuku Edeni. Yali ayagala bazaale, ensi yonna ejjule abantu abatuukiridde abandimusinzizza kyeyagalire n’emitima emirongoofu. (Lub. 1:28) Sitaani yawakanya obufuzi bwa Yakuwa olw’okuba yeegomba okusinzibwa ate nga Yakuwa, Mukama Afuga Byonna, ye yekka alina okusinzibwa.—Yak. 1:14, 15.
14. Sitaani yatuuka ku buwanguzi bwe yaggulawo olutalo ku kusinza okw’amazima? Nnyonnyola.
14 Sitaani yatuuka ku buwanguzi bwe yaggulawo olutalo ku kusinza okw’amazima? Sitaani yasobola okuggya Adamu ne Kaawa ku Katonda. Okuva olwo, azze alwanyisa okusinza okw’amazima ng’afuba okulaba nti aggya bangi nga bwe kisoboka ku Yakuwa Katonda. Sitaani yagezaako n’okukema abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo. Mu kyasa ekyasooka yaleetera bangi okufuuka bakyewaggula ne kiviirako ekibiina Ekikristaayo okwonoonebwa, era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, okusinza okulongoofu kwalabika ng’okuweddewo. (Mat. 13:24-30, 36-43; Bik. 20:29, 30) Mu kyasa eky’okubiri E.E., abasinza ab’amazima baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene, era obuwambe obwo baabumalamu ebbanga ddene. Naye Sitaani tasobodde kulemesa kigendererwa kya Katonda ekikwata ku kusinza okulongoofu kutuukirira. Tewali kiyinza kulemesa Katonda kutuukiriza kigendererwa kye. (Is. 46:10; 55:8-11) Erinnya lye lizingirwamu, ate nga bulijjo Yakuwa atuukana n’amakulu g’erinnya lye. Yakuwa bulijjo atuukiriza ekigendererwa kye.
Omusaale mu Kulwanirira Okusinza Okulongoofu
15. Kiki Yakuwa kye yakolawo nga wazzeewo obujeemu mu Edeni era kiki kye yakolawo okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirira?
15 Okusobola okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirira, Yakuwa alina kye yakolawo amangu ddala ng’obujeemu bwakabaawo mu Edeni. (Soma Olubereberye 3:14-19.) Nga Adamu ne Kaawa bakyali na mu lusuku Edeni, Yakuwa yasalira abajeemu abasatu ebibonerezo. Yatandikira ku Sitaani eyasooka okujeema, n’azzaako Kaawa, n’asembyayo Adamu. Bwe yali asalira Sitaani ekibonerezo, Yakuwa yayogera ku ‘zzadde’ eryali ligenda okujja, eryandimazeewo ebintu ebibi ebyali bigenda okuva mu bujeemu obwo. “Ezzadde” eryo eryasuubizibwa lyandibadde n’ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku kusinza okulongoofu.
16. Oluvannyuma lw’obujeemu mu Edeni, biki ebirala Yakuwa bye yakola okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirira?
16 Oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu Edeni, Yakuwa alina ebirala bye yakola okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirira. Yakola entegeka abantu abatatuukiridde basobole okumusinza mu ngeri gy’asiima nga bwe tujja okulaba mu ssuula eddako. (Beb. 11:4–12:1) Ate era yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli abawerako, gamba nga Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri, okuwandiika obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Okuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu y’emu ku nsonga enkulu ezoogerwako ennyo mu Bayibuli. Obunnabbi obwo bwonna bwandituukiriziddwa okuyitira mu ‘zzadde’ eryasuubizibwa, era ng’ekitundu ekikulu ‘eky’ezzadde’ eryo ye Yesu Kristo. (Bag. 3:16, obugambo obuli wansi.) Yesu ye musaale mu kulwanirira okusinza okulongoofu, era ekyo kyeyolekera mu bigambo bye yaddamu Sitaani mu kikemo eky’okusatu. Mu butuufu, Yakuwa yalonda Yesu okutuukiriza obunnabbi obukwata ku kuzzaawo okusinza okulongoofu. (Kub. 19:10) Yesu yandinunudde abantu ba Katonda okuva mu buwambe obw’eby’omwoyo n’azzaawo okusinza okulongoofu.
Onookola Ki?
17. Lwaki obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu butusanyusa nnyo?
17 Kituleetera essanyu lingi era kinyweza okukkiriza kwaffe bwe twekenneenya obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Obunnabbi obwo bukulu nnyo gye tuli, kubanga butuleetera okwesunga ekiseera ebitonde byonna mu ggulu ne ku nsi lwe biriba nga bisinza Yakuwa Mukama Afuga Byonna. Obunnabbi obwo era butuwa essuubi kubanga bulimu ebimu ku bisuubizo bya Katonda ebisingayo okutuleetera essanyu. Ani ku ffe ateesunga kulaba kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa, gamba ng’ebyo ebikwata ku kuzuukizibwa kw’abafu, ensi yonna okufuuka ekifo ekirabika obulungi, n’abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna nga balamu bulungi?—Is. 33:24; 35:5, 6; Kub. 20:12, 13; 21:3, 4.
18. Kiki kye tugenda okwekenneenya ku kitabo kino?
18 Mu kitabo kino tujja kwekenneenya obunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri. Bungi ku bunnabbi obwo bukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Tujja kulaba engeri obunnabbi bwa Ezeekyeri gye bukwataganamu n’obunnabbi obulala, engeri gye butuukirizibwamu okuyitira mu Kristo, n’engeri gye butukwatako.—Laba akasanduuko “Ebiri mu Kitabo kya Ezeekyeri mu Bufunze.”
19. Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?
19 Yesu bwe yali mu ddungu ly’e Buyudaaya mu mwaka gwa 29 E.E., Sitaani yalemererwa okumuggya ku kusinza okulongoofu. Ne leero Sitaani afuba okukola kyonna ekisoboka okutuggya ku kusinza okw’amazima. (Kub. 12:12, 17) Ekitabo kino ka kituyambe okweyongera okuba abamalirivu okuziyiza Omukemi oyo. Ate era ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe ka bikirage nti tukkiriziganya n’ebigambo Yesu bye yayogera, bwe yagamba nti: “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza.” Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kubeerawo mu kiseera ebitonde byonna mu ggulu ne ku nsi lwe biribeera nga biwa Yakuwa ekyo ky’agwanidde okuweebwa, kwe kugamba, nga byonna bimusinza n’omutima omulongoofu!
a Okusinziira ku kunoonyereza okumu, erinnya Yakuwa litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Amakulu ago gatuukana bulungi n’eky’okuba nti Yakuwa ye Mutonzi era nti atuukiriza ebigendererwa bye.
b Nga kyogera ku bigambo bya Sitaani ebyo, ekitabo ekimu kigamba nti: “Okufaananako ekikemo ekisooka okwogerwako mu Bayibuli, Adamu ne Kaawa kye baalemwa okuziyiza . . . , ne mu kikemo kino ensonga enkulu yali ekwata ku kulondawo okukola ekyo Sitaani ky’ayagala oba ekyo Katonda ky’ayagala. N’olwekyo, ekyo omuntu ky’alondawo kiraga obanga asazeewo kusinza Sitaani oba Katonda. Sitaani yeeteeka mu kifo kya Katonda.”
c Mu Njiri ya Lukka ebikemo ebyo bisengekebwa mu ngeri ya njawulo, naye kirabika Enjiri ya Matayo ebisengeka nga bwe byaddiriŋŋana. Lowooza ku nsonga ssatu lwaki tugamba bwe tutyo. (1) Matayo bw’aba ayogera ku kikemo eky’okubiri atandika n’ekigambo ky’Oluyonaani toʹte, ekiraga nti kye kikemo ekyaddako. (2) Era kiba kikola amakulu okuba nti ebikemo ebibiri ebisooka Sitaani bye yaleeta mu ngeri enneekusifu, ebitandika n’ebigambo, “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda”—biddirirwa ekikemo eky’okusatu Sitaani mwe yakyolekera kaati nti yali ayagala Yesu amenye etteeka erisooka. (Kuv. 20:2, 3) (3) Ate era ebigambo “Vaawo genda Sitaani!” Yesu bye yayogera biwunzika bulungi ekikemo eky’okusatu era ekisembayo.—Mat. 4:5, 10, 11.