ESSUULA 18
“Obusungu Bwange Obungi Bulibuubuuka”
OMULAMWA: Obulumbaganyi bwa Googi buleetera Yakuwa okusunguwala; Yakuwa alwanirira abantu be ku lutalo Amagedoni
1-3. (a) Kiki ekinaabaawo nga Yakuwa ayolesezza ‘obusungu bwe obungi’? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okulaba?
ABASAJJA, abakazi, n’abaana bayimiridde wamu, era bayimba oluyimba lw’Obwakabaka. Oluvannyuma omukadde mu kibiina asaba Yakuwa abakuume. Ab’oluganda abo bakakafu nti Yakuwa ajja kubakuuma, naye era beetaaga okubudaabudibwa n’okunywezebwa. Ebweru eriyo amaloboozi g’abantu abakaaba n’abaleekaana. Olutalo Amagedoni lutandise!—Kub. 16:14, 16.
2 Ku lutalo Amagedoni Yakuwa agenda kuzikiriza abantu mu ‘busungu obungi.’ (Soma Ezeekyeri 38:18.) Obusungu bwe tagenda kubwolekeza ggye limu lyokka oba ggwanga limu lyokka, wabula ajja kubwolekeza abantu bangi nnyo okwetooloola ensi. Ku lunaku olwo abo Yakuwa b’alitta “baliba mu nsi yonna.”—Yer. 25:29, 33.
3 Kiki ekijja okuleetera Yakuwa, Katonda ow’okwagala, ‘omusaasizi, ow’ekisa,’ era “alwawo okusunguwala,” okwoleka ‘obusungu obungi’? (Kuv. 34:6; 1 Yok. 4:16) Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kituzzaamu amaanyi, kitugumya, era kituleetera okweyongera okubuulira n’obunyiikivu.
Kiki Ekireetera Yakuwa Okwoleka ‘Obusungu Obungi’?
4, 5. Engeri Yakuwa gy’ayolekamu obusungu bwe eyawukana etya ku ngeri abantu abatatuukiride gye boolekamu obusungu?
4 Tulina okukijjukira nti engeri Yakuwa gy’ayolekamu obusungu ya njawulo ku ngeri abantu abatatuukiridde gye babwolekamu. Omuntu bw’asunguwala ennyo n’abaako ky’akolawo, ebivaamu tebitera kuba birungi. Ng’ekyokulabirako, Kayini, omwana wa Adamu omubereberye, ‘yasunguwala nnyo’ olw’okuba Yakuwa teyasiima kiweebwayo kye naye n’asiima ekya Abbeeri. Kiki ekyavaamu? Kayini yatta muganda we eyali omutuukirivu. (Lub. 4:3-8; Beb. 11:4) Ate era lowooza ku Dawudi ayogerwako ng’omusajja eyali asanyusa omutima gwa Yakuwa. (Bik. 13:22) N’omusajja oyo omulungi yabulako katono okukola ekibi eky’amaanyi bwe yawulira nti Nabbali, omusajja eyali omugagga, yali amuvumye era n’avuma n’abasajja be yali atumye. Mu busungu obungi, Dawudi n’abasajja be ‘beesiba ebitala byabwe,’ ne bagenda okutta Nabbali na buli musajja ow’omu nnyumba ye. Ekirungi, Abbigayiri mukyala wa Nabbali yawooyawooya Dawudi n’abasajja be ne batawoolera ggwanga. (1 Sam. 25:9-14, 32, 33) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakuwa yaluŋŋamya Yakobo okuwandiika nti: “Obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.”—Yak. 1:20.
Yakuwa afuga obusungu bwe era kyangu okulaba ensonga lwaki aba asunguwadde
5 Obutafaananako bantu, ye Yakuwa afuga obusungu bwe era kyangu okulaba ensonga lwaki aba asunguwadde. Yakuwa ne bw’aba ng’asunguwadde, by’akola biba bya butuukirivu. Bw’aba alwanyisa abalabe be, tazikiriza ‘batuukirivu wamu n’ababi.’ (Lub. 18:22-25) Okugatta ku ekyo, ensonga ezireetera Yakuwa okusunguwala ziba za butuukirivu. Ka tulabeyo ensonga bbiri n’ebyo bye tuziyigirako.
6. Kiki Yakuwa ky’akolawo ng’erinnya lye livumaganyiziddwa?
6 Ensonga: Ng’erinnya lya Yakuwa livumaganyiziddwa. Abo abeegamba okuba nti bakiikirira Yakuwa naye nga bakola ebintu ebibi bavumaganya erinnya lye era ekyo kimunyiiza. (Ezk. 36:23) Nga bwe twalaba mu ssuula ezaayita ez’ekitabo kino, Abayisirayiri baaleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Endowooza yaabwe n’enneeyisa yaabwe byanyiiza nnyo Yakuwa. Naye Yakuwa yafuga obusungu bwe era yababonereza ku kigero ekituufu. (Yer. 30:11) Ate era obusungu bwa Yakuwa bwe bwamala okutuukiriza ekigendererwa kyabwo, teyasigala ng’asibye ekiruyi.—Zab. 103:9.
7, 8. Biki bye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri?
7 Eby’okuyiga: Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri erina ekintu ekikulu ky’etuyigiriza. Okufaananako Abayisirayiri ab’edda, naffe tulina enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa. Tuli Bajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10) Bye twogera ne bye tukola birina kye bikola ku linnya lya Katonda gwe tukiikirira. Tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Bwe tukola ekintu ekivumisa erinnya lya Yakuwa, kimunyiiza era mu kiseera kye ekituufu abaako ky’akolawo okutukuza erinnya lye.—Beb. 3:13, 15; 2 Peet. 2:1, 2.
8 Okuba nti Yakuwa asobola okusunguwala ennyo kyanditulemesezza okumusemberera? Nedda. Tukimanyi nti Yakuwa mugumiikiriza era asonyiwa. (Is. 55:7; Bar. 2:4) Naye era tukimanyi nti abonereza bwe kiba kyetaagisa. Mu butuufu, bwe tukimanya nti obusungu bwe bubuubuukira abo abagugubira mu kukola ebibi era nti abantu ng’abo tasobola kubakkiriza kusigala mu bantu be, kituleetera okweyongera okumussaamu ekitiibwa. (1 Kol. 5:11-13) Yakuwa atutegeezezza ebyo ebimuleetera okunyiiga. Kiri eri ffe okulaba nti twewala endowooza n’ebikolwa ebimunyiiza.—Yok. 3:36; Bar. 1:26-32; Yak. 4:8.
9, 10. Kiki Yakuwa ky’akolawo ng’abantu be balumbiddwa? Waayo ebyokulabirako.
9 Ensonga: Ng’Abantu ba Yakuwa balumbiddwa. Yakuwa asunguwala ng’abalabe be balumbye abantu be. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baava e Misiri, Falaawo n’eggye lye ery’amaanyi baabalumba nga bali ku Nnyanja Emmyufu; era Abayisirayiri baali ng’abatalina buddukiro bwonna. Naye Falaawo n’eggye lye bwe baawondera Abayisirayiri nga bayita mu nnyanja eyo, Yakuwa yaggya nnamuziga ku magaali gaabwe era n’abasuula mu nnyanja. “Tewali n’omu ku bo yawonawo.” (Kuv. 14:25-28) Obusungu bwa Yakuwa bwabuubuukira Abamisiri ‘olw’okwagala okutajjulukuka’ kwe yalina eri abantu be.—Soma Okuva 15:9-13.
10 Mu ngeri y’emu, okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu be kwamuleetera okubalwanirira mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya. Eggye lya Bwasuli, eryali lisingayo okuba ery’amaanyi mu kiseera ekyo era eryali ekkambwe ennyo, lyali lizze okulumba ekibuga Yerusaalemi. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali boolekedde akabi ak’ekibuga kyabwe okuzingizibwa bagende nga bafa mpolampola mu bulumi obutagambika. (2 Bassek. 18:27) Naye Yakuwa yasitukiramu n’asindika malayika omu n’atta abasirikale ba Bwasuli 185,000 mu kiro kimu kyokka! (2 Bassek. 19:34, 35) Kuba akafaananyi ku mbeera eyaliwo mu lusiisira lw’Abaasuli ng’obudde bukedde. Ng’amafumu, engabo, n’emitego byonna biri awo nga tewali abikutteko. Nga tewali muntu afuuwa kkondeere kuzuukusa balwanyi. Nga tewali awa basirikale biragiro. Ng’olusiisira lwonna lujjudde emirambo era ng’akasiriikiriro ka maanyi nnyo.
11. Ebyo bye tusoma mu Byawandiikibwa ebiraga ekyo Yakuwa ky’akolawo ng’abantu be balumbiddwa bituzzaamu bitya amaanyi?
11 Eby’okuyiga: Ebyokulabirako ebyo ebiraga ekyo Yakuwa ky’akolawo ng’abantu be balumbiddwa birimu okulabula eri abalabe baffe: “Kya ntiisa nnyo okugwa mu mikono gya Katonda omulamu” ng’obusungu bwe bubuubuuse. (Beb. 10:31) Naye ffe ebyokulabirako ebyo bitubudaabuda era bituzzaamu nnyo amaanyi. Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Sitaani omulabe waffe omukulu tajja kuwangula. ‘Akaseera akatono’ k’asigazza kanaatera okuggwaako! (Kub. 12:12) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tusaanidde okweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli bakakafu nti tewali muntu, kibiina, oba gavumenti esobola kutulemesa kukola Katonda by’ayagala. (Soma Zabbuli 118:6-9.) Naffe tulina obwesige bwe bumu ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Katonda bw’aba ku ludda lwaffe, ani ayinza okutulwanyisa?”—Bar. 8:31.
12. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, kiki ekinaaleetera obusungu bwa Yakuwa okubuubuuka?
12 Mu kibonyoobonyo ekinene ekijja, Yakuwa ajja kutulwanirira nga bwe yalwanirira Abayisirayiri, Abamisiri bwe baali babataayizza ne mu kiseera Abaasuli bwe baali babalumbye. Abalabe baffe bwe banaagezaako okutusaanyaawo, okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli kujja kuleetera obusungu bwe okubuubuuka. Abo abanaatulumba bajja kuba ng’abakutte ku mmunye y’eriiso lya Yakuwa. Yakuwa ajja kusitukiramu mu bwangu okulwanirira abantu be. (Zek. 2:8, 9) Abantu abanattibwa ku olwo bajja kuba bangi nnyo. Naye abalabe ba Yakuwa bajja kuba tebalina kwewuunya nsonga lwaki Yakuwa anaaba aboolekezza obusungu bwe. Lwaki?
Yakuwa Alabudde Atya Abantu?
13. Kulabula ki Yakuwa kw’awadde abantu?
13 Yakuwa “alwawo okusunguwala” era alabudde abantu nga bukyali nti ajja kuzikiriza abo abamulwanyisa era abayigganya abantu be. (Kuv. 34:6, 7) Yakuwa yakozesa bannabbi nga Yeremiya, Ezeekyeri, Danyeri, Kristo Yesu, saako n’omutume Peetero, Pawulo, ne Yokaana okulabula abantu ku lutalo olukulu olujja.—Laba akasanduuko “Yakuwa Alabula Abantu ku Lutalo Olukulu Olugenda Okujja.”
14, 15. Biki Yakuwa by’akoze, era lwaki?
14 Okulabula okwo Yakuwa yakussa mu Kigambo kye. Era yakakasa nti Bayibuli kye kitabo ekisinga okuvvuunulwa mu nnimi ez’enjawulo n’okubunyisibwa mu bantu. Okwetooloola ensi, Yakuwa ataddewo bannakyewa bangi abayamba abantu okumanya engeri gye bayinza okutabagana ne Katonda era abalabula abantu ku ‘Lunaku lwa Yakuwa olukulu.’ (Zef. 1:14; Zab. 2:10-12; 110:3) Yakuwa asobozesezza abantu be okuvvuunula ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi nnyingi nnyo n’okuwaayo obudde bungi nnyo mu mulimu gw’okubuulira abantu ku bisuubizo ebiri mu Kigambo kye ne ku kulabula okukirimu.
15 Yakuwa asobozesezza ebintu ebyo byonna okukolebwa “kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Nga nkizo ya maanyi gye tulina okukiikirira Katonda waffe ow’okwagala era omugumiikiriza, n’okuyambako mu kulangirira obubaka bwe! Naye akakisa abantu ke balina okukolera ku bubaka obwo kanaatera okuggwaawo.
Obusungu bwa Yakuwa “Bulibuubuuka” Ddi?
16, 17. Yakuwa yassaawo olunaku olulibeerako olutalo olw’enkomerero? Nnyonnyola.
16 Yakuwa yassaawo dda olunaku olulibeerako olutalo olw’enkomerero. Amanyi ddi abantu be lwe bajja okulumbibwa. (Mat. 24:36) Yakuwa asobola atya okumanya ekiseera kyennyini abalabe be lwe banaalumba abantu be?
17 Nga bwe twalaba mu ssuula eyayita, Yakuwa agamba Googi nti: ‘Nja kuteeka amalobo mu mba zo.’ Yakuwa ajja kuleetera amawanga okumulwanyisa. (Ezk. 38:4) Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa y’agenda okutandikawo olutalo olwo; era tekitegeeza nti abo abagenda okumulwanyisa ajja kubaggyako eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Wabula kitegeeza nti Yakuwa asobola okumanya ekiri mu mitima gy’abalabe be era aba amanyi kye baba bagenda okukola mu mbeera ezitali zimu.—Zab. 94:11; Is. 46:9, 10; Yer. 17:10.
18. Lwaki abantu bajja kugezaako okulwanyisa Omuyinza w’Ebintu Byonna?
18 Bwe kiba nti Yakuwa si y’ajja okutandikawo olutalo olwo oba nti si y’ajja okuwaliriza balabe be kumulwanyisa, kati olwo lwaki abantu obuntu bajja kwetantala okulwanyisa Omuyinza w’Ebintu Byonna? Emu ku nsonga eri nti mu kiseera ekyo abantu bayinza okuba nga bajja kuba balowooza nti Katonda taliiyo oba nti tasobola kuyingira mu nsonga z’abantu. Oboolyawo bajja kulowooza bwe batyo kubanga bajja kuba baakamala okusaanyaawo amadiini gonna ag’obulimba agali mu nsi. N’olwekyo, ekyo kiyinza okubaleetera okugamba nti ‘Singa ddala Katonda gy’ali yandibadde alwanirira ebibiina by’eddiini ebyo ebibadde bigamba nti bimukiikirira.’ Tebajja kukimanya nti Katonda y’anaaba yakiteeka mu mitima gyabwe okusaanyaawo amadiini ago agamaze ebbanga nga gavumaganya erinnya lye.—Kub. 17:16, 17.
19. Kiki ekiyinza okubaawo oluvannyuma lw’amadiini ag’obulimba okuzikirizibwa?
19 Nga wayise akaseera katono oluvannyuma lw’amadiini ag’obulimba okuzikirizibwa, kiyinzika okuba nti Yakuwa ajja kuleetera abantu be okulangirira obubaka obw’amaanyi ennyo, ekitabo ky’Okubikkulirwa bwe kigeraageranya ku bitole by’omuzira, nga buli kitole kizitowa kiro nga 20. (Kub. 16:21, obugambo obuli wansi.) Obubaka obwo, oboolyawo obujja okuba nga bugamba nti enteekateeka y’eby’obufuzi n’ey’eby’obusuubuzi zinaatera okusaanawo, bujja kunyiiza nnyo abanaabuwulira batuuke n’okuvvoola Katonda. Kirabika obubaka obwo bwe bujja okuleetera amawanga okulumba abantu ba Katonda okubasaanyawo. Bajja kulowooza nti tetulina bukuumi bwonna era nti kyangu okutusaanyaawo. Ng’eyo ejja kuba nsobi ya maanyi!
Yakuwa Anaayoleka Atya Obusungu Bwe?
20, 21. Googi y’ani, era kiki ekigenda okumutuukako?
20 Nga bwe twalaba mu Ssuula 17 ey’ekitabo kino, Ezeekyeri akozesa ebigambo, “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi,” okutegeeza amawanga aganeegatta awamu okutulumba. (Ezk. 38:2) Naye amawanga ago tegajja kuba bumu ddala. Wadde nga ganaalabika ng’agakolagana obulungi, gajja kuba galina omwoyo ogw’okuvuganya, amalala, era nga geerowoozaako gokka. Kijja kuba kyangu eri Yakuwa okuleetera ab’omu mawanga ago buli omu okwefuulira ‘munne amulwanyise.’ (Ezk. 38:21) Wadde kinaaba kityo, okuzikirizibwa kw’amawanga kujja kuba kuvudde eri Yakuwa, so si eri bantu.
21 Abalabe baffe bwe banaaba tebannazikirizibwa, bajja kulaba akabonero k’Omwana w’Omuntu, oboolyawo ng’ekyo kitegeeza nti bajja kulaba ebintu ebitali bya bulijjo ebyoleka amaanyi ga Yakuwa ne Yesu. Abalabe baffe bajja kulaba ebintu ebijja okubaleetera okweraliikirira ennyo. Nga Yesu bwe yagamba, “abantu balizirika olw’okutya n’olw’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi.” (Luk. 21:25-27) Awo we bajja okukitegeerera nti baakola nsobi okulumba abantu ba Yakuwa. Bajja kuwalirizibwa okukimanya nti ddala Yakuwa ye Katonda ow’eggye. (Zab. 46:6-11; Ezk. 38:23) Kya lwatu nti Yakuwa ajja kukozesa eggye ery’omu ggulu n’amaanyi g’obutonde okukuuma abaweereza be abeesigwa n’okusaanyaawo abalabe be.—Soma 2 Peetero 2:9.
22, 23. Baani abagenda okukuuma abantu ba Katonda, era omulimu ogwo banaagutwala batya?
Ebyo bye tumanyi ku lunaku lwa Yakuwa byanditukubirizza kukola ki?
22 Lowooza ku bumalirivu Yesu bw’anaayoleka ng’akulemberamu eggye okulwanyisa abalabe ba Katonda n’okukuuma abo abaagala Kitaawe era abamuweereza. Ate era lowooza ku ngeri abaafukibwako amafuta gye banaaba bawuliramu. Amagedoni bw’anaaba anaatera okutandika, abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyali ku nsi bajja kutwalibwa mu ggulu, olwo nno bonna 144,000 basobole okwegatta ku Yesu mu kulwana olutalo olwo. (Kub. 17:12-14) Kya lwatu nti bangi ku baafukibwako amafuta balina omukwano ogw’oku lusegere n’ab’endiga endala be bakolera awamu nabo mu nnaku zino ez’enkomerero. Mu kiseera ekyo, abaafukibwako amafuta bajja kuba balina obuyinza n’amaanyi okulwanirira bannaabwe ab’endiga endala abaabayamba ennyo nga bagezesebwa.—Mat. 25:31-40.
23 Mu ggye lya Yesu ery’omu ggulu mujja kubaamu ne bamalayika. (2 Bas. 1:7; Kub. 19:14) Bamalayika baakolera wamu ne Yesu okugoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu. (Kub. 12:7-9) Era mu kiseera kino beenyigira mu mulimu ogukolebwa ku nsi ogw’okukuŋŋaanya abantu abaagala okusinza Yakuwa. (Kub. 14:6, 7) Nga kituukirawo okuba nti Yakuwa ajja kukozesa ne bamalayika okukuuma abantu be abeesigwa! N’ekisinga obukulu, bonna abanaaba mu ggye lya Yakuwa bajja kugitwala nga nkizo ya maanyi okutukuza erinnya lye, nga basaanyaawo abalabe be.—Mat. 6:9, 10.
24. Ab’ekibiina ekinene banaakola ki ku lunaku lwa Yakuwa olukulu?
24 Olw’okuba ab’ekibiina ekinene bajja kuba balina eggye ery’amaanyi bwe lityo eribakuuma, tebajja kuba na nsonga yonna ebaleetera kutya. Mu butuufu, ‘bajja kuyimirira busimba bayimuse emitwe gyabwe, kubanga okununulibwa kwabwe kujja kuba kunaatera okutuuka.’ (Luk. 21:28) N’olwekyo, ng’olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka, kikulu nnyo okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okumanya n’okwagala Yakuwa Kitaffe omusaasizi era akuuma abantu be!—Soma Zeffaniya 2:2, 3.
25. Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?
25 Entalo z’abantu bwe ziba zaakaggwa, ebintu byonna biba bikyankalanye era wabaawo ennaku etagambika. Naye olutalo Amagedoni bwe lunaggwa, ebintu bijja kutambula mu ngeri entegeke era wajja kubaawo essanyu lingi. Embeera eneebeera etya ng’obusungu bwa Yakuwa bukkakkanye, ng’ebitala by’abalwanyi be bizziddwayo mu biraato byabyo, era ng’olutalo luweeredde ddala? Mu ssuula eddako tujja kulaba ebintu ebirungi ebigenda okubaawo mu kiseera ekyo.