Okyajjukira?
Wanyumirwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Lwaki Masiya yalina okufa?
Okufa kwa Yesu kwalaga nti omuntu atuukiridde asobola okwemalira ku Katonda ne bwagezesebwa kwenkana wa. Era yasasula omutango olw’ekibi ekyasikirwa bazzukulu ba Adamu, kisobozese abantu okufuna bulamu obutaggwaawo.—12/15, olupapula 22-23.
• Bintu ki ebisobola okuyamba omuntu okwewala okukozesa obubi omwenge?
Okusaba n’okusoma Baibuli. Okuyiga okwefuga, okunywerera ku ky’osazeewo, n’okuba n’emikwano egizimba. Oyo asalawo okunywa asaanidde okweteerawo ekkomo, n’okuyiga okugaana nga waliwo abamupikiriza okunywa ekisusse.—1/1-E, olupapula 7-9.
• Okuba n’empuliziganya ennungi n’abaana kizingiramu ki?
Tekikoma ku kwogera bwogezi nabo, naye era kizingiramu okubabuuza ebibuuzo n’okuba abeetegefu okubawuliriza nga bakuddamu. Bangi bakizudde nti ebiseera by’okulya bibawa akakisa okunyumya emboozi ezizimba.—1/15, olupapula 18-19.
• Bwe kiba nti Yakuwa atuukiridde, lwaki asobola okwejjusa?
Ebiseera ebimu, Katonda akyusa endowooza gy’alina ku bantu. Ng’ekyokulabirako, emirundi mingi, Abaisiraeri ab’edda baavanga ku Yakuwa ne bagoberera bakatonda abalala. Yakuwa yabaggyangako obukuumi bwe. Kyokka, abantu bwe baanakuwaliranga ensobi zaabwe ne beegayirira Katonda okubayamba, yakyusanga endowooza ye gye bali, oba ‘yejjusanga.’ (Balam. 2:18)—2/1-E, olupapula 21.
• Ddi lwe kiyinza okwetaagisa omuntu okuddamu okubatizibwa?
Ekyo kiyinza okubaawo bwe kiba nti mu kiseera we yabatirizibwa, omuntu oyo yali alina ekibi eky’amaanyi ky’akola mu nkukutu ekyali kiyinza okumuviirako okugobebwa mu kibiina singa yali mubatize.—2/15, olupapula 22.
• Nsonga ki essatu abantu ze batera okwekwasa olw’obutaba beesigwa?
Abamu beekwasa nti obwavu bwe bubaleetera okubba. Abalala bagamba nti, “Ndaba buli omu si mwesigwa.” Ate abalala bwe balonda ebintu eby’omuwendo babyetwalira nga bagamba nti, “kyerondera taba mubbi.” Baibuli tewagira wadde emu ku nsonga zino.—3/1-E, olupapula 12-14.
• Mu lugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddo, okusiga, oba okusimba, ensigo ennungi kukiikirira ki?
Omwana w’omuntu, Yesu, yateekateeka ennimiro mu kiseera kye yamala mu buweereza bwe ku nsi. Okuva ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. n’okweyongerayo, ensigo ennungi zaatandika okusigibwa ng’Abakristaayo bafukibwako amafuta ng’abaana ba Katonda oba abaana b’Obwakabaka.—3/15, olupapula 20.
• Eŋŋaano ey’akabonero eyogerwako mu lugero lwa Yesu ereetebwa etya mu tterekero lya Yakuwa? (Mat. 13:30)
Kino kituukirizibwa mu kiseera kino eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Abaana b’Obwakabaka abaafukibwako amafuta, eŋŋaano ey’akabonero, baleetebwa mu tterekero lya Yakuwa bwe baleetebwa mu kibiina Ekikristaayo ekyazzibwawo oba bwe baweebwa empeera yaabwe mu ggulu.—3/15, olupapula 22.
• Ani yasalawo bitabo ki ebirina okubeera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani?
Kino tekyasalibwawo kakiiko ka ddiini oba mukulembeze wa ddiini yenna. Mu kifo ky’ekyo, Abakristaayo ab’amazima, nga baluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, baasobola okumanya ebitabo ebyaluŋŋamizibwa. Kino kituyamba okulaba ensonga lwaki ebimu ku birabo by’omwoyo ebyaweebwa ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka mwe mwali ‘okutegeera ebigambo ebyaluŋŋamizibwa.’ (1 Kol. 12:4, 10)—4/1, olupapula 28.