“Omukulembeze Wammwe Ali Omu, Ye Kristo”
“Temuyitibwanga . . . ‘bakulembeze’ kubanga Omukulembeze wammwe ali omu, ye Kristo.”—MAT. 23:10.
1. Abajulirwa ba Yakuwa ani gwe batwala ng’Omukulembeze waabwe, era lwaki?
AMADIINI ga Kristendomu gakulemberwa bantu, gamba nga ppaapa ow’e Rooma n’abakulembeze b’amadiini abalala. Abajulirwa ba Yakuwa bo tebalina muntu buntu gwe batwala nga mukulembeze waabwe. Si bayigirizwa oba bagoberezi ba muntu yenna. Kino kikwatagana bulungi n’obunnabbi Yakuwa bwe yayogera obukwata ku Mwana we: “Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu [“omukulembeze,” NW] era omugabe eri amawanga.” (Is. 55:4) Ab’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu nsi yonna ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ tebeetaaga mukulembeze mulala yenna okuggyako oyo Yakuwa gw’abawadde. (Yok. 10:16) Bakkiriziganya n’ebigambo bya Yesu bino: “Omukulembeze wammwe ali omu, ye Kristo.”—Mat. 23:10.
Malayika, Omulangira wa Isiraeri
2, 3. Bintu ki Omwana wa Katonda bye yakola mu Isiraeri?
2 Ng’ebula ebyasa by’emyaka ekibiina Ekikristaayo kitandikibwewo, Yakuwa yalonda malayika okukulembera abantu be, Isiraeri. Oluvannyuma lw’okuggya Abaisiraeri mu Misiri, Yakuwa yabagamba nti: “Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka. Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye.” (Kuv. 23:20, 21) Awatali kubuusabuusa, malayika ono eyalina ‘erinnya lya Yakuwa mu nda ye,’ ye Mwana wa Katonda omubereberye.
3 Bwe yali tannazaalibwa ng’omuntu, Omwana wa Katonda yali ayitibwa Mikayiri. Mu kitabo kya Danyeri, Mikayiri ayogerwako ‘ng’omulangira w’abantu ba Danyeri,’ Isiraeri. (Dan. 10:21) Omuyigirizwa Yuda yakiraga nti Mikayiri alina ebintu bye yakolanga mu Isiraeri nga ne Danyeri tannabaawo. Oluvannyuma lw’okufa kwa Musa, kirabika Sitaani yali ayagala kukozesa omulambo gwa Musa okutuukiriza ebigendererwa bye, oboolyawo aleetere Abaisiraeri okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Mikayiri yayingira mu nsonga okusobola okuziyiza ekyo okubaawo. Yuda agamba nti: “Mikayiri malayika omukulu bw’atakkiriziganya n’Omulyolyomi ku bikwata ku mulambo gwa Musa, teyamusalira musango ng’amuvuma naye yamugamba nti: ‘Ka Yakuwa akunenye.’” (Yud. 9) Ekibuga Yeriko bwe kyali tekinnaba kuzingizibwa, Mikayiri, ‘omukulu ow’eggye lya Yakuwa,’ ateekwa okuba nga ye yalabikira Yoswa n’amukakasa nti yalina obuwagizi bwa Katonda. (Soma Yoswa 5:13-15.) Dayimooni emu ey’amaayi bwe yagezaako okulemesa malayika okutwala obubaka obukulu eri nnabbi Danyeri, malayika omukulu Mikayiri yajja n’ayamba malayika oyo.—Dan. 10:5-7, 12-14.
Omukulembeze Eyalagulwako
4. Bunnabbi ki obukwata ku kujja kwa Masiya obwayogerwa?
4 Ebyo bwe byali tebinnabaawo, Yakuwa yali amaze okusindika malayika Gabulyeri eri nnabbi Danyeri amuwe obubaka obukwata ku kujja kw’oyo “afukibwako amafuta, omulangira [“Omukulembeze,” NW].” (Dan. 9:21-25)a Mu kiseera kyennyini ekyalagulwa, mu mwaka 29 Embala Eno (E.E.), Yesu yabatizibwa Yokaana. Omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku Yesu, bw’atyo n’afuuka Masiya oba Kristo. (Mat. 3:13-17; Yok. 1:29-34; Bag. 4:4) Nga Masiya, yali agenda kufuuka Omukulembeze atageraageranyizika.
5. Kristo yakola atya ng’Omukulembeze mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi?
5 Okuviira ddala ku ntandikwa y’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yakiraga nti ye yali ‘oyo eyafukibwako amafuta, Omukulembeze.’ Ennaku ntono nga yakatandika obuweereza bwe, Yesu yatandika okukuŋŋaanya abayigirizwa era yakola ekyamagero ekyasooka. (Yok. 1:35–2:11) Abayigirizwa be baatambulanga naye yonna gye yagendanga ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Luk. 8:1) Yabatendeka okukola omulimu gw’okubuulira era yabateerawo ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira ne mu kuyigiriza. (Luk. 9:1-6) Leero abakadde mu kibiina basaanidde okukoppa ekyokulabirako kye.
6. Kristo yakiraga atya nti Musumba era Mukulembeze?
6 Yesu yalaga engeri endala gy’akulemberamu bwe yeegeraageranya ku musumba omulungi. Abasumba mu Asiya ow’ebuvanjuba bwe baabanga balunda endiga zaabwe, be baakulemberangamu ne ziryoka zibagoberera. Mu kitabo ekiyitibwa The Land and the Book, W. M. Thomson yagamba nti: “Omusumba akulembera endiga, si kuziraga bulazi kkubo, wabula okulaba obanga gye zigenda teri mutawaana. . . . Ng’akozesa omuggo [gwe] akulembera endiga ze n’azitwala awali omuddo omulungi, era n’azikuuma eri abalabe baazo.” Ng’alaga nti ye Musumba omutuufu era Omukulembeze, Yesu yagamba nti: “Nze musumba omulungi; omusumba omulungi awaayo obulamu bwe ku lw’endiga. Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nzimanyi, era zingoberera.” (Yok. 10:11, 27) Ng’atuukana n’ebigambo bye ebyo, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’endiga ze, naye Yakuwa ‘yamugulumiza okubeera Omukulembeze era Omulokozi.’—Bik. 5:31, Baibuli ey’Oluganda eya 2003; Beb. 13:20.
Omulabirizi w’Ekibiina Ekikristaayo
7. Yesu akozesa ki okulabirira ekibiina Ekikristaayo?
7 Bwe yali anaatera okulinnya mu ggulu, Yesu eyali azuukiziddwa yagamba abayigirizwa be nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Mat. 28:18) Yakuwa yakozesa Yesu okuwa abayigirizwa be omwoyo omutukuvu gubanyweze mu by’omwoyo. (Yok. 15:26) Yesu yafuka omwoyo ogwo ku Bakristaayo abaasooka ku lunaku lwa Pentekoote mu mwaka gwa 33 E.E. (Bik. 2:33) Okufukibwa kw’omwoyo omutukuvu okwo ye yali entandikwa y’ekibiina Ekikristaayo. Yakuwa yawa Omwana we obuyinza okukulembera ekibiina ekyo ng’asinziira mu ggulu. (Soma Abeefeso 1:22; Abakkolosaayi 1:13, 18.) Yesu akulembera ekibiina Ekikristaayo ng’akozesa omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu awamu ne bamalayika ‘abaateekebwa wansi we.’—1 Peet. 3:22.
8. Kristo yakozesa baani mu kyasa ekyasooka okukulembera abayigirizwa be, era akozesa baani leero?
8 Era ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Kristo yawa “abantu ng’ebirabo,” abamu ‘ng’abasumba n’abalala ng’abayigiriza’ mu kibiina. (Bef. 4:8, 11) Omutume Pawulo yakubiriza abalabirizi Abakristaayo nti: “Mwekuume era mukuume n’ekisibo kyonna omwoyo omutukuvu mwe gwabalonda okuba abalabirizi, okulundanga ekibiina kya Katonda.” (Bik. 20:28) Ekibiina Ekikristaayo we kyatandikira, abalabirizi bonna baali basajja abaafukibwako amafuta. Abatume n’abakadde mu kibiina ky’e Yerusaalemi be baakolanga ng’akakiiko akafuzi. Okuyitira mu kakiiko ako akafuzi, Kristo yakulembera ekibiina kya “baganda” be abaafukibwako amafuta ku nsi. (Beb. 2:11; Bik. 16:4, 5) Mu kiseera kino eky’enkomerero, Kristo “ebintu bye byonna”—ebintu byonna ebiri ku nsi ebikwataganyizibwa n’Obwakabaka—abisigidde “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira, akatuulwako abasajja Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Mat. 24:45-47) Abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe ab’endiga endala bakimanyi bulungi nti bwe bakolera ku bulagirizi bw’Akakiiko Akafuzi akaliwo mu kiseera kino, baba bagoberera Omukulembeze waabwe, Kristo.
Kristo Atandika Omulimu gw’Okubuulira
9, 10. Yesu yawa bulagirizi ki obukwata ku kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka?
9 Okuviira ddala ku ntandikwa y’obuweereza bwe ku nsi, Yesu kennyini yawa obulagirizi ku ngeri omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza gye gwandikoleddwamu mu nsi yonna. Yalaga engeri amawulire amalungi ag’Obwakabaka gye gandituusiddwa ku bantu abatuula ku nsi. Mu buweereza bwe, Yesu yagamba abatume be nti: “Temugenda eri ab’amawanga era temuyingira mu kibuga kyonna eky’Abasamaliya; naye mugende eri endiga ez’ennyumba ya Isiraeri ezaabula. Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Mat. 10:5-7) Kino baakikola n’obunyiikivu mu Bayudaaya ne mu bakyufu, naddala oluvannyuma lwa Pentekoote 33 E.E.—Bik. 2:4, 5, 10, 11; 5:42; 6:7.
10 Oluvannyuma, ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Yesu yagaziya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka ne kiba nti amawulire amalungi gaatuuka ku Basamaliya ne ku bantu abalala abataali Bayudaaya. (Bik. 8:5, 6, 14-17; 10:19-22, 44, 45) Ng’alina ekigendererwa eky’okubunyisa amawulire amalungi mu b’amawanga, Yesu kennyini yayamba Sawulo ow’e Taluso okufuuka Omukristaayo. Yesu yagamba omuyigirizwa we Ananiya nti: “Yimuka ogende ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, obuuze mu nnyumba ya Yuda omusajja ayitibwa Sawulo ow’e Taluso. . . . Genda, kubanga omusajja ono kibya kye nnonze okutwala erinnya lyange mu mawanga, mu bakabaka ne mu baana ba Isiraeri.” (Bik. 9:3-6, 10, 11, 15) “Omusajja ono” ye yafuuka omutume Pawulo.—1 Tim. 2:7.
11. Kristo yakozesa atya omwoyo omutukuvu okugaziya omulimu gw’okubuulira?
11 Ekiseera bwe kyatuuka okugaziya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu bantu abataali Bayudaaya, omwoyo omutukuvu gwawa Pawulo obulagirizi okugenda okubuulira mu bitundu by’Asiya Omutono ne mu Bulaaya. Mu Ebikolwa, Lukka agamba nti: “[Bannabbi Abakristaayo n’abayigiriza mu kibiina ky’e Antiyokiya eky’e Busuuli] bwe baali baweereza Yakuwa era nga basiiba, omwoyo omutukuvu ne gugamba: ‘Mu bantu bonna, munnonderemu Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.’ Awo ne basiiba, ne basaba, ne babassaako emikono ne babaleka ne bagenda.” (Bik. 13:2, 3) Yesu kennyini ye yalonda Sawulo ow’e Taluso okuba ‘ekibya kye ekironde’ asobole okuwa obujulirwa ku linnya Lye mu b’amawanga. Bwe kityo Kristo, Omukulembeze w’ekibiina, ye yayongera amaanyi mu mulimu guno ogw’okuwa obujulirwa. Eky’okuba nti Yesu akozesa omwoyo omutukuvu okuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira kyeyolekera bulungi mu lugendo lwa Pawulo olw’obuminsani olw’okubiri. Ebyawandiikibwa bigamba nti “omwoyo gwa Yesu,” kwe kugamba, Yesu ng’akozesa omwoyo omutukuvu, gwakulembera Pawulo ne banne ne gubalaga ddi ne wa gye baalina okugenda, era okuyitira mu kwolesebwa gwabakulembera ne gubatuusa mu Bulaaya.—Soma Ebikolwa 16:6-10.
Engeri Yesu gy’Akulemberamu Ekibiina Kye
12, 13. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga kitya nti Kristo amanyi bulungi ebigenda mu maaso mu buli kibiina?
12 Yesu yali ategeera bulungi ebigenda mu maaso mu bibiina by’abagoberezi be abaafukibwako amafuta mu kyasa ekyasooka E.E. Yali amanyi bulungi embeera ey’eby’omwoyo eya buli kibiina. Kino kyeyolekera mu ebyo bye tusoma mu Okubikkulirwa essuula 2 ne 3. Mu ssuula ezo, ayogera ku bibiina omusanvu ebyali mu Asiya Omutono. (Kub. 1:11) Ekyo kiraga nti ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi n’embeera ey’eby’omwoyo ey’ebibiina bya bagoberezi be ebirala ebyaliwo ku nsi mu kiseera ekyo.—Soma Okubikkulirwa 2:23.
13 Yesu yasiima ebimu ku bibiina ebyo olw’obugumiikiriza, olw’obwesigwa bwe byalaga nga bigezesebwa, olw’okunywerera ku kigambo kye, n’olw’okuziyiza bakyewaggula. (Kub. 2:2, 9, 13, 19; 3:8) Ku luuyi olulala, yanenya ebibiina ebimu olw’okuba okwagala kwabyo gyali kwali kuwoze, byali bigumiikiriza okusinza ebifaananyi, obwenzi, n’obubiinabiina. (Kub. 2:4, 14, 15, 20; 3:15, 16) Ng’omulabirizi alina okwagala—n’eri abo be yanenya—Yesu yagamba nti: “Abo bonna be njagala mbanenya era mbakangavvula. N’olwekyo, beera munyiikivu era weenenye.” (Kub. 3:19) Wadde nga yali mu ggulu, Yesu yali akulembera ebibiina by’abayigirizwa be ku nsi ng’akozesa omwoyo omutukuvu. Bwe yali afundikira obubaka bwe eri ebibiina ebyo, yagamba nti: “Oyo alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ebibiina.”—Kub. 3:22.
14-16. (a) Yesu akyolese atya nti Mukulembeze w’abantu ba Yakuwa omuvumu? (b) Biki ebivudde mu kuba nti Yesu ‘abadde wamu’ n’abayigirizwa be “ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu”? (c) Biki bye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?
14 Nga bwe tulabye, Mikayiri (Yesu) ye malayika ow’amaanyi eyakozesebwa okukulembera Abaisiraeri. Oluvannyuma, Yesu yakyoleka nti yali Mukulembeze muvumu era Omusumba omulungi ow’abayigirizwa be mu kyasa ekyasooka. Mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yakulembera omulimu gw’okubuulira. Era oluvannyuma lw’okuzuukira, yeeyongera okulabirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.
15 Ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Yesu yali wa kugaziya omulimu gw’okuwa obujulirwa okutuuka ku nkomerero y’ensi. Nga tannalinnya mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako, era muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8; soma 1 Peetero 1:12.) Olw’obulagirizi Kristo bwe yawa, obujulirwa obw’amaanyi bwaweebwa mu kyasa ekyasooka.—Bak. 1:23.
16 Kyokka Yesu yakiraga nti omulimu guno gwandigenze mu maaso okutuukira ddala mu nnaku ez’oluvannyuma. Oluvannyuma lw’okulagira abagoberezi be okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna, Yesu yabagamba nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Okuva lwe yafuulibwa Kabaka mu 1914, Kristo kati n’okusinga bwe kyali kibadde ‘ali wamu’ n’abayigirizwa be era akola ng’Omukulembeze waabwe. Ebyo by’azze akola okuviira ddala mu 1914 bijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku bunnabbi buno, laba essuula 11 mu katabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
Okwejjukanya
• Omwana wa Katonda yakola atya ng’Omukulembeze mu Isiraeri?
• Kristo akozesa ki okukulembera ekibiina kye ku nsi?
• Kristo awadde atya obulagirizi mu kubunyisa amawulire amalungi?
• Kiki ekiraga nti Kristo amanyi bulungi embeera ey’eby’omwoyo eya buli kibiina?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
“Ntuma malayika mu maaso go”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Nga bwe kyali mu biseera eby’edda, Kristo akozesa ‘ebirabo mu bantu’ okulunda ekisibo kye