Omukulembeze Waffe Akola Ennyo Leero
“Agenda ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.”—KUB. 6:2.
1, 2. (a) Baibuli eyogera etya ku ekyo Kristo ky’azze akola nga Kabaka okuva mu 1914? (b) Biki Kristo by’akoze okuva lwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka?
KRISTO yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka bwa Masiya mu 1914. Naye tumutwala tutya leero? Tumutwala nga kabaka atudde obutuuzi mu ntebe ye, nga bw’agira n’atunulako ku nsi okulaba engeri ekibiina kye gye kitambulamu? Bwe kiba kityo, tusaanidde okukyusa endowooza yaffe. Mu Zabbuli ne mu kitabo ky’Okubikkulirwa, Kristo ayogerwako nga kabaka ow’amaanyi atudde ku mbalaasi, “agenda awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.”—Kub. 6:2; Zab. 2:6-9; 45:1-4.
2 Kristo kye yasooka okukola nga yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka kwe kuwangula “ogusota ne bamalayika baagwo.” Nga malayika omukulu Mikayiri ng’aduumira bamalayika be, Kristo yagoba Sitaani awamu ne badayimooni mu ggulu n’abasuula ku nsi. (Kub. 12:7-9) Oluvannyuma, Yesu ng’akola ‘ng’omubaka wa Yakuwa ow’endagaano,’ yajja ne Kitaawe okulambula yeekaalu ey’eby’omwoyo. (Mal. 3:1) Yasalira omusango Kristendomu, nga kino kye kitundu kya “Babulooni Ekinene” ekisinga obukulu, olw’okukisanga nga kyenyigira mu kuyiwa omusaayi awamu n’okwenyigira mu bwenzi obw’eby’omwoyo n’enteekateeka y’ensi eno ey’eby’obufuzi.—Kub. 18:2, 3, 24.
Alongoosa Abaddu Be ku Nsi
3, 4. (a) ‘Ng’omubaka’ wa Yakuwa, mulimu ki Kristo gwe yakola? (b) Kiki ekyazuulwa oluvannyuma lw’okulambula yeekaalu, era ng’Omutwe gw’ekibiina, ani Yesu gwe yakwasa obuvunaanyizibwa?
3 Yakuwa ‘n’omubaka’ we bwe baalambula yeekaalu ey’eby’omwoyo, era baalaba mu luggya lwayo ekibiina ky’Abakristaayo ab’amazima, abataali mu madiini ga Kristendomu. Kyokka, n’Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta, oba “batabani ba Leevi,” baali beetaaga okulongoosebwa. Kino nnabbi Malaki yakiragulako ng’agamba nti: “[Yakuwa] alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.” (Mal. 3:3) Yakuwa yakozesa ‘omubaka we ow’endagaano,’ Kristo Yesu, okulongoosa Abaisiraeri bano ab’eby’omwoyo.
4 Kristo yasanga Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta abeesigwa nga bakola kyonna kye basobola okuwa ab’omu nju ye emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. Okuviira ddala mu 1879, nga bayitira mu magazini eno, baali bazze bannyonnyola amazima ga Baibuli agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, wadde ng’ebiseera ebimu embeera teyali nnyangu. Yesu yali yalagula nti bwe ‘yandikomyewo’ okulambula ab’omu nju ye mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ yandisanze nga waliwo omuddu abawa “emmere yaabwe mu kiseera ekituufu.” Omuddu oyo yandimuyise wa ssanyu era ‘yandimusigidde ebintu bye byonna’ ebiri ku nsi. (Mat. 24:3, 45-47) Ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Kristo akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuddukanya omulimu gwe ogw’Obwakabaka ku nsi. Awa obulagirizi “ab’omu nju ye” abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ okuyitira mu Kakiiko Akafuzi.—Yok. 10:16.
Akungula Ensi
5. Mu kwolesebwa, Yokaana yalaba Kabaka Masiya ng’akola ki?
5 Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa okwalaga ekintu ekirala Kabaka Masiya kye yandikoze mu “lunaku lwa Mukama waffe,” oluvannyuma lw’okutuuzibwa ku ntebe mu 1914. Yokaana yawandiika nti: “Ne ndaba, era laba! ekire ekyeru era nga ku kire kutuddeko alinga omwana w’omuntu, ng’alina engule eya zaabu ku mutwe gwe n’ekiwabyo ekyogi mu mukono.” (Kub. 1:10; 14:14) Yokaana yawulira malayika okuva eri Yakuwa ng’agamba Omukunguzi ono okukwata ekiwabyo “kubanga amakungula g’ensi gengeredde ddala.”—Kub. 14:15, 16.
6. Kiki Yesu kye yagamba nti kyandibaddewo mu nnimiro ng’amakungula tegannatuuka?
6 Ebigambo “amakungula g’ensi” bitujjukiza olugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddo. Yesu yeegeraageranya ku musajja eyasiga ensigo mu nnimiro ye ng’asuubira okukungula eŋŋaano ennungi, ekiikirira ‘abaana b’obwakabaka,’ nga bano be Bakristaayo ab’amazima abaafukibwako amafuta abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka bwe. Naye mu kiro, omulabe, ‘Omulyolyomi,’ yasiga mu nnimiro eyo omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano, ‘abaana b’omubi.’ Omusizi yagamba abakozi be baleke eŋŋaano ekulire wamu n’omuddo okutuusa ku makungula, ku ‘mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’ Ekiseera ekyo bwe kyandituuse, yandisindise bamalayika okwawula eŋŋaano ku muddo.—Mat. 13:24-30, 36-41.
7. Kristo akubiriza atya omulimu ‘gw’amakungula g’ensi’?
7 Ng’okwolesebwa okwaweebwa Yokaana bwe kwalaga, Yesu abadde akubiriza omulimu gw’amakungula ogukolebwa mu nsi yonna. “Amakungula g’ensi” gaatandika n’okukuŋŋaanyizibwa kw’ensigalira ‘y’abaana b’obwakabaka’ 144,000, “eŋŋaano” Yesu gye yayogerako mu lugero lwe. Enjawulo eri wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’ab’obulimba yeeyongera okulabika oluvannyuma lwa Ssematalo I, ekyo ne kiyamba mu kukuŋŋaanyizibwa kw’ab’endiga endala—ekitundu eky’okubiri ‘eky’amakungula g’ensi.’ Bano bo si ‘baana ba bwakabaka,’ wabula be ‘b’ekibiina ekinene’ abakiraze nti bakkirizza okufugibwa Obwakabaka obwo. Bakungulwa okuva mu ‘bantu bonna, amawanga, n’ennimi.’ Bakkiriza Obwakabaka bwa Masiya, obufugibwa Kristo Yesu awamu ‘n’abatukuvu’ 144,000 abagenda okufugira awamu naye mu gavumenti eyo ey’omu ggulu.—Kub. 7:9, 10; Dan. 7:13, 14, 18.
Akulembera Ebibiina
8, 9. (a) Kiki ekiraga nti Kristo takoma ku kwetegereza nneeyisa ya kibiina kyonna okutwalira awamu naye era yeetegereza n’enneeyisa ya buli omu akirimu? (b) Nga bwe kiragibwa ku lupapula 26, ‘bintu ki ebya Sitaani eby’omunda’ bye tusaanidde okwewala?
8 Mu kitundu ekyayita twalaba nti Kristo yali amanyi bulungi embeera ey’eby’omwoyo eya buli kibiina ekyaliwo mu kyasa ekyasooka E.E. Mu kiseera kyaffe, nga Kabaka aweereddwa “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi,” Kristo Omukulembeze waffe akulembera ebibiina mu nsi yonna awamu n’abalabirizi baabyo. (Mat. 28:18; Bak. 1:18) Yakuwa ‘yamufuula omutwe gw’ebintu byonna ku lw’obulungi bw’ekibiina’ ky’abaafukibwako amafuta. (Bef. 1:22) Bwe kityo, alaba buli kimu ekigenda mu maaso mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 100,000.
9 Ng’ayogera eri ekibiina ky’e Suwatira, Yesu yagamba nti: “Omwana wa Katonda alina amaaso agali ng’ennimi z’omuliro . . . agamba bw’ati: ‘Mmanyi ebikolwa byo.’” (Kub. 2:18, 19) Yanenya abo abaali mu kibiina ekyo olw’empisa zaabwe ez’obugwenyufu ng’agamba nti: “Nze nkebera ensigo n’emitima era nti nja kuwa buli muntu kinnoomu ekimugwanira okusinziira ku bikolwa bye.” (Kub. 2:23) Ebigambo ebyo biraga nti Kristo takoma ku kwetegereza nneeyisa ya kibiina kyonna okutwalira awamu naye era yeetegereza n’enneeyisa ya buli omu akirimu. Yesu yasiima Abakristaayo b’e Suwatira abaali ‘batamanyi “bintu bya Sitaani eby’omunda.”’ (Kub. 2:24) Ne leero, asiima abo bonna, abakulu n’abato, abafuba okwewala ‘ebintu bya Sitaani eby’omunda’ ebibeera ku Internet, mu mizannyo gya kompyuta egirimu ebikolwa eby’obukambwe, oba ebyeyolekera mu ndowooza z’abantu ez’obugwenyufu. Nga kirina okuba nga kimuleetera essanyu okulaba Abakristaayo bangi leero nga beefiiriza era nga bafuba okugoberera obukulembeze bwe mu ngeri ezitali zimu!
10. Eky’okuba nti Kristo awa abakadde mu bibiina obulagirizi kiragibwa kitya, naye kiki kye balina okumanya?
10 Kristo alabirira ebibiina bye ku nsi ng’akozesa abakadde. (Bef. 4:8, 11, 12) Mu kyasa ekyasooka, abalabirizi bonna baali baafukibwako amafuta. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, boogerwako ng’emmunyeenye eziri mu mukono gwa Kristo ogwa ddyo. (Kub. 1:16, 20) Leero, abasinga obungi ku bakadde mu bibiina ba ndiga ndala. Naye olw’okuba balondebwa oluvannyuma lw’okusaba n’okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, tusobola okugamba nti nabo Kristo abawa obulagirizi, oba bali mu mukono gwe. (Bik. 20:28) Kyokka bakimanyi nti Kristo akozesa abasajja abaafukibwako amafuta abali ku Kakiiko Akafuzi okukulembera n’okuwa obulagirizi abayigirizwa be ku nsi.—Soma Ebikolwa 15:6, 28-30.
“Jjangu, Mukama Waffe Yesu”
11. Lwaki twesunga nnyo okulaba Omukulembeze waffe ng’ajja mangu?
11 Mu kubikkulirwa okwaweebwa omutume Yokaana, emirundi egiwerako Yesu yagamba nti yali ajja mangu. (Kub. 2:16; 3:11; 22:7, 20) Awatali kubuusabuusa, yali ayogera ku kujja okuzikiriza Babulooni Ekinene awamu n’enteekateeka ya Sitaani ey’ebintu. (2 Bas. 1:7, 8) Olw’okuba yali yeesunga okulaba okutuukirizibwa kw’ebintu ebyo eby’ekitalo ebyalagulwa, omutume Yokaana eyali akaddiye yagamba nti: “Amiina! Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Naffe abaliwo mu kiseera kino eky’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu twesunga nnyo okulaba Omukulembeze waffe era Kabaka waffe ng’ajja ng’omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda okutukuza erinnya lya Kitaawe n’okulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna.
12. Mulimu ki Kristo gw’ajja okumaliriza ng’empewo ez’okuzikiriza tezinnateebwa?
12 Yesu nga tannajja kuzikiriza nteekateeka ya Sitaani, asembayo ku Baisiraeri ab’omwoyo 144,000 ajja kuba amaze okuteekebwako akabonero ak’enkomeredde. Baibuli ekiraga bulungi nti empewo ez’okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani tezijja kuteebwa okutuusa nga bonna 144,000 bamaze okuteekebwako akabonero ak’enkomeredde.—Kub. 7:1-4.
13. Kristo anaayoleka atya okubeerawo kwe mu kitundu ekisooka ‘eky’ekibonyoobonyo ekinene’?
13 Wadde ng’ekiseera ‘ky’okubeerawo’ kwa Kristo kyatandika mu 1914, ekyo abantu abasinga obungi tebakimanyi. (2 Peet. 3:3, 4) Kyokka mu kiseera ekitali kya wala, Kristo ajja kwoleka okubeerawo kwe ng’atuukiriza omusango Yakuwa gw’asalidde ebitundu eby’enjawulo eby’enteekateeka ya Sitaani ey’ebintu. Okuzikirizibwa ‘kw’omujeemu,’ nga bano be bakulembeze ba Kristendomu, kujja kulagira ddala bulungi “okubeerawo kwe.” (Soma 2 Abassessaloniika 2:3, 8.) Ekyo kijja kuwa obukakafu nti Kristo y’akola ng’Omulamuzi Yakuwa gw’alonze. (Soma 2 Timoseewo 4:1.) Okuzikirizibwa kw’ekitundu kya Babulooni Ekinene ekisinga okubaako omusango y’ejja okuba entandikwa y’okuzikirizibwa kw’amadiini gonna ag’obulimba. Yakuwa ajja kuteeka ekirowoozo mu mitima gya bakulembeze b’amawanga bazikirize malaaya ono ow’eby’omwoyo. (Kub. 17:15-18) Ekyo kye kijja okuba ekitundu ekisooka ‘eky’ekibonyoobonyo ekinene.’—Mat. 24:21.
14. (a) Lwaki ennaku ez’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene zijja kukendeezebwako? (b) “Akabonero k’Omwana w’omuntu” kanaategeeza ki eri abantu ba Yakuwa?
14 Yesu yagamba nti ennaku z’ekibonyoobonyo ekyo zijja kukendeezebwako “olw’abalonde,” ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi. (Mat. 24:22) Yakuwa tajja kukkiriza kuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba kutwaliramu Bakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala. Yesu yagattako nti “ng’ekibonyoobonyo ky’omu nnaku ezo kiwedde,” wajja kubaawo obubonero ku njuba, ku mwezi, ne ku mmunyeenye, “awo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu.” Kino kijja kuleetera amawanga g’omu nsi ‘okukuba ebiwoobe.’ Naye ekyo si bwe kijja okuba eri abaafukibwako amafuta, abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, era ne bannaabwe, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Bajja ‘kuyimirira busimba, era bayimuse emitwe gyabwe, kubanga okununulibwa kwabwe kuliba kunaatera okutuuka.’—Mat. 24:29, 30; Luk. 21:25-28.
15. Mulimu ki Kristo gw’ajja okukola ng’azze?
15 Bw’anaaba tannamaliriza kuwangula kwe, Omwana w’omuntu era ajja kujja mu ngeri endala. Yalagula nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ng’ali wamu ne bamalayika bonna, alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa. Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era alyawula abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. Aliteeka endiga ku mukono gwe ogwa ddyo, ate embuzi ku mukono gwe ogwa kkono.” (Mat. 25:31-33) Kino kisonga ku kujja kwa Kristo ng’Omulamuzi okwawula abantu ‘ab’amawanga gonna’ mu biti bibiri: “endiga,” beebo abanaaba bakiraze nti bawagira baganda be ab’eby’omwoyo (Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku nsi) ate ‘embuzi,’ beebo “abatagondera mawulire malungi agakwata ku Mukama waffe Yesu.” (2 Bas. 1:7, 8) Endiga, aboogerwako ‘ng’abatuukirivu,’ bajja kufuna ‘obulamu obutaggwaawo’ ku nsi, ate embuzi “baligenda mu kufa okw’olubeerera,” oba balizikirizibwa.—Mat. 25:34, 40, 41, 45, 46.
Yesu Amaliriza Okuwangula Kwe
16. Kristo Omukulembeze waffe anaamaliriza atya okuwangula kwe?
16 Ng’abo bonna abagenda okuweereza nga bakabaka era bakabona awamu naye bamaze okuteekebwako akabonero era nga n’endiga zimaze okwawulibwa era nga ziteekeddwa ku mukono gwe ogwa ddyo okusobola okulokolebwa, Kristo ajja kugenda mu maaso ‘amalirize okuwangula kwe.’ (Kub. 5:9, 10; 6:2) Ng’akulembera eggye lya bamalayika ab’amaanyi era ng’ali wamu ne baganda be abanaaba bazuukiziddwa, ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani yonna ey’eby’obufuzi, ey’eby’amagye, n’ey’eby’obusuubuzi. (Kub. 2:26, 27; 19:11-21) Okuwangula kwa Kristo kujja kukomekerezebwa ng’azikiriza enteekateeka ya Sitaani embi. Oluvannyuma ajja kusuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya okumala emyaka lukumi.—Kub. 20:1-3.
17. Ab’endiga endala Kristo ajja kubakulembera kubatuusa wa mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, era tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki?
17 Ng’ayogera ku ‘kibiina ekinene’ eky’ab’endiga endala abajja okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene, omutume Yokaana yalagula nti “Omwana gw’Endiga ali wakati w’entebe ey’obwakabaka alibalunda era alibatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.” (Kub. 7:9, 17) Yee, mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Kristo ajja kweyongera okukulembera ab’endiga endala abawuliriza eddoboozi lye, abatwale mu bulamu obutaggwaawo. (Soma Yokaana 10:16, 26-28.) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okugoberera Omukulembeze waffe era Kabaka waffe—kati n’okutuukira ddala mu nsi ya Yakuwa empya eyasuubizibwa!
Okwejjukanya
• Kristo yakola ki oluvannyuma lw’okutuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka?
• Baani Kristo baakozesa okukulembera ebibiina?
• Kristo Omukulembeze waffe ajja kujja mu ngeri ki?
• Kristo aneeyongera atya okutukulembera mu nsi empya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Okuzikirizibwa kw’enteekateeka ya Sitaani kujja kuleetera okubeerawo kwa Kristo okweyoleka