ETTEREKERO LYAFFE
“Ababuulizi b’Obwakabaka mu Bungereza—Muzuukuke!”
AKAPAPULA Informanta aka Ddesemba 1937 kaafulumiramu omutwe ogugamba nti: “Ababuulizi b’Obwakabaka mu Bungereza—Muzuukuke!” Kaagamba nti: “Mu myaka kkumi tewabaddewo nkulaakulana yonna mu Bungereza.” Ekyo kyali kyeyolekera ku lipoota y’obuweereza ey’emyaka ekkumi, okuva mu 1928 okutuuka mu 1937, eyali kungulu ku kapapula ako.
BAPAYONIYA BANGI NNYO
Kiki ekyali kiviiriddeko omulimu gw’okubuulira okutambula akasoobo mu Bungereza? Waali wayise emyaka mingi nga tewali nkulaakulana ya maanyi mu bibiina. Ate era ofiisi y’ettabi yali egambye nti mu Bungereza beetaaga bapayoniya 200 bokka era nti bapayoniya abo baali ba kuweerereza mu bitundu ebyesudde awatali bibiina. Bwe kityo, ofiisi y’ettabi mu Bungereza yagamba abo bonna abaali baagala okufuuka bapayoniya okugenda okuweerereza mu nsi za Bulaaya endala. N’ekyavaamu bapayoniya bangi baava mu Bungereza ne bagenda mu nsi za Bulaaya endala, gamba nga Bufalansa, wadde nga baali tebamanyi bulungi nnimi ezoogerwa mu nsi ezo.
“OMULANGA”
Akapapula Informant aka 1937 kaalaga ekiruubirirwa ababuulizi mu Bungereza kye baasabibwa okutuukako mu mwaka gwa 1938. Baasabibwa okumala essaawa akakadde kamu mu mulimu gw’okubuulira! Ekyo okusobola okukituukako, ababuulizi baasabibwa buli omu afube okubuulira essaawa nga 15 buli mwezi, ate bo bapayoniya buli omu afube okubuulira ssaawa nga 110 buli mwezi. Ate era ebibiina byakubirizibwa okuba n’enteekateeka ey’okugenda okubuulira buli lunaku okumala essaawa ttaano, era nti essira lissibwe ku kuddiŋŋana abantu, naddala wakati mu wiiki mu budde obw’akawungeezi.
Bangi nnyo baasanyukira nnyo enteekateeka eyo. Mwannyinaffe Hilda Padgettb agamba nti: “Omulanga ogwo ogwali guvudde ku kitebe kyaffe ekikulu twali tugwetaaga era bwe twagwanukula mwavaamu ebirungi bingi.” Mwannyinaffe Wallis yagamba nti: “Okubuulira essaawa ttaano buli lunaku kyavaamu ebirungi! Kyatuleeteranga essanyu okumala essaawa nnyingi nga tubuulira buli lunaku. . . . Twakomangawo nga tukooye, naye nga tuli basanyufu.” Ow’oluganda Stephen Miller naye yayanukula omulanga ogwo. Yali ayagala okubuulira n’obunyiikivu ng’akyalina akakisa okukikola! Stephen ajjukira nti ab’oluganda bangi baatambuliranga ku bugaali nga babuulira era olw’eggulo baateekerangako abantu gramufomu ne bawuliriza emboozi. Baabuuliranga n’obunyiikivu; baatambuliranga mu bibinja nga bakutte ebipande ebyabangako obubaka obutali bumu era baagabiranga abantu magazini.
Akapapula Informant era kaagamba nti bapayoniya 1,000 baali beetaagibwa. Okugatta ku ekyo, waali wazzeewo enkyukakyuka empya nga kati bapayoniya baalina okukolera awamu n’ebibiina, basobole okuwagira bakkiriza bannaabwe n’okubazzaamu amaanyi. Joyce Ellis agamba nti: “Kati ab’oluganda bangi baali batandise okukiraba nti beetaaga okutandika okuweereza nga bapayoniya.” Agattako nti: “Wadde nga mu kiseera ekyo nnalina emyaka 13 gyokka, nange nnali njagala okutandika okuweereza nga payoniya.” Joyce yatandika okuweereza nga payoniya mu Jjulaayi 1940, nga wa myaka 15. Ow’oluganda Peter, oluvannyuma eyawasa Joyce, naye yawulira omulanga ogwo, ne kimuleetera okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya. Mu Jjuuni 1940, nga wa myaka 17, yavuga eggaali olugenda lwa mayiro 65 n’agenda e Scarborough gye yali asindikiddwa okuweereza nga payoniya.
Cyril Johnson ne mukyala we Kitty baayoleka omwoyo ogw’okwefiiriza okusobola okutandika okuweereza nga bapayoniya. Baasalawo okutunda ennyumba yaabwe n’ebintu byabwe ebitali bimu okusobola okufuna ssente okweyimirizaawo nga baweereza nga bapayoniya. Cyril yaleka omulimu gwe, era mu mwezi gumu gwokka baali beetegefu okutandika okuweereza nga bapayoniya. Cyril agamba nti: “Twali bakakafu nti twali tusazeewo mu ngeri ey’amagezi era ekyo twakikola n’essanyu.”
AMAKA GA BAPAYONIYA GATANDIKIBWAWO
Omuwendo gwa bapayoniya bwe gweyongera obungi, ab’oluganda abaali batwala obukulembeze baalowooza ku ngeri gye baali bayinza okuyambamu bapayoniya abo. Jim Carr, eyali aweereza ng’omuweereza wa zooni (kati ayitibwa omulabirizi w’ekitundu) mu 1938, yakolera ku bulagirizi obwamuweebwa n’atandikawo amaka ga bapayoniya. Bapayoniya abawerako baasabibwa okusula awamu, kibayambe okukendeeza ku nsaasaanya. Mu kitundu ky’e Sheffield bapayoniya baapangisa ennyumba ennene, era ow’oluganda omu n’alondebwa okulabirira amaka ga bapayoniya ago. Ekibiina ky’omu kitundu kyawaayo ssente okuwagira omulimu gw’okutandikawo amaka ga bapayoniya ago era ne kibawa entebe n’emmeeza bye baali beetaaga. Jim agamba nti: “Buli omu yakola butaweera okuwagira enteekateeka eyo.” Bapayoniya kkumi be baali basula mu nnyumba eyo, era baalina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. “Buli ku makya bapayoniya baasomeranga wamu ekyawandiikibwa ky’olunaku, ne balya eky’enkya, oluvannyuma ne bagenda okubuulira mu bitundu by’ekibuga ebitali bimu.”
Ababuulizi ne bapayoniya baayanukula omulanga ogwava ku kitebe kyaffe ekikulu era mu 1938 baasobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’okumala essaawa akakadde kamu mu mulimu gw’okubuulira. Mu butuufu lipoota ziraga nti waaliwo okweyongerayongera kwa maanyi mu mulimu gw’okubuulira. Mu bbanga lya myaka etaano, omuwendo gw’ababuulizi mu Bungereza gwakubisaamu emirundi ng’esatu. Okuba nti abantu ba Yakuwa baayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira kyabayamba okwetegekera ebiseera ebizibu eby’olutalo ebyali bijja.
Ne leero, ng’olutalo Kalumagedoni lugenda lusembera, omuwendo gwa bapayoniya mu Bungereza gweyongera okulinnya buli mwaka. Mu Okitobba 2015, bapayoniya mu Bungereza baali bawerera ddala 13,224. Bapayoniya abo bakimanyi bulungi nti okubeera mu buweereza obw’ekiseera kyonna ye ngeri esingayo obulungi omuntu gy’ayinza okukozesaamu obulamu bwe.
a Oluvannyuma kaayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
b Osobola okusoma ebikwata ku Mwannyinaffe Padgett mu Watchtower eya Okitobba 1, 1995, lup. 19-24.