EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51
“Yakuwa . . . Alokola Abo Abaweddemu Amaanyi”
“Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; Alokola abo abaweddemu amaanyi.”—ZAB. 34:18, obugambo obuli wansi.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
OMULAMWAa
1-2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
OLUUSI tuyinza okulowooza ku ky’okuba nti obulamu bumpi era nti ennaku zaffe ‘zijjudde ebizibu.’ (Yob. 14:1) N’olwekyo tekyewuunyisa nti ebiseera ebimu tuwulira nga tuweddemu amaanyi. Waliwo abaweereza ba Yakuwa abawerako mu biseera eby’edda abaawulira bwe batyo. Abamu baatuuka n’okwagala okufa. (1 Bassek. 19:2-4; Yob. 3:1-3, 11; 7:15, 16) Naye Yakuwa Katonda gwe beesiga yababudaabuda era n’abazzaamu amaanyi. Ebibakwatako byawandiikibwa bisobole okutubudaabuda n’okutuyigiriza.—Bar. 15:4.
2 Mu kitundu kino tugenda kulaba abamu ku baweereza ba Yakuwa abaayolekagana n’ebizibu ebimalamu amaanyi. Tugenda kulaba Yusufu mutabani wa Yakobo, nnamwandu Nawomi ne muka mwana we Luusi, Omuleevi eyawandiika Zabbuli 73, n’omutume Peetero. Yakuwa yabazzaamu atya amaanyi? Era biki bye tuyinza okubayigirako? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bitukakasa nti “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese,” era nti “alokola abo abaweddemu amaanyi.”—Zab. 34:18, obugambo obuli wansi.
YUSUFU YAYOLEKAGANA N’OBUTALI BWENKANYA OBW’AMAANYI
3-4. Biki ebyatuuka ku Yusufu bwe yali ng’akyali muvubuka?
3 Yusufu yalina emyaka 17 we yalootera ebirooto ebibiri ebyali bivudde eri Katonda. Ebirooto ebyo byalaga nti ekiseera kyandituuse Yusufu n’aba n’ekifo eky’obuvunaanyizibwa, era nti bonna mu maka bandimussizzaamu ekitiibwa. (Lub. 37:5-10) Naye oluvannyuma lw’okuloota ebirooto ebyo, obulamu bwa Yusufu bwakyukira ddala. Mu kifo ky’okumussaamu ekitiibwa, baganda be baamutunda. Era yafuuka muddu w’omukungu omu mu Misiri eyali ayitibwa Potifaali. (Lub. 37:21-28) Mu kaseera katono, Yusufu eyali omwana kitaawe gwe yali asinga okwagala yafuuka omuddu w’omukungu mu Misiri eyali tasinza Yakuwa.—Lub. 39:1.
4 Naye ebizibu bya Yusufu byali bitandika butandisi. Mukazi wa Potifaali yawayiriza Yusufu nti yali agezaako okumukwata. Nga tasoose kunoonyereza, Potifaali yasiba Yusufu mu kkomera, era Yusufu baamusiba mu byuma. (Lub. 39:14-20; Zab. 105:17, 18) Lowooza ku ngeri Yusufu gye yawuliramu ng’awaayiriziddwa nti yali agezaako okukwata muka mukama we. Era lowooza ku kivume obulimba obwo kye bwaleeta ku linnya lya Yakuwa. Mazima ddala ebintu ebyo biteekwa okuba nga byamalamu nnyo Yusufu amaanyi!
5. Kiki ekyayamba Yusufu ng’ayolekaganye n’ebizibu ebimalamu amaanyi?
5 Yusufu bwe yali omuddu ne bwe yali ng’asibiddwa mu kkomera, yali talina ky’ayinza kukolawo kukyusa mbeera ye. Kiki ekyamuyamba okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu? Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku ebyo bye yali takyasobola kukola, yakolanga n’obunyiikivu emirimu gyonna egyamuweebwanga. N’ekisingira ddala obukulu, Yusufu yasigala akulembeza Yakuwa mu bulamu bwe. N’ekyavaamu, Yakuwa yawa omukisa buli kimu Yusufu kye yakolanga.—Lub. 39:21-23.
6. Ebirooto Yusufu bye yali yaloota biyinza okuba nga byamuzzaamu bitya amaanyi?
6 Ate era Yusufu ayinza okuba nga yaddamu amaanyi mu kufumiitiriza ku birooto Yakuwa bye yali yamuleetera okuloota. Ebirooto ebyo byalaga nti yandizzeemu okulaba ab’ewaabwe era nti embeera ye yandirongoose. Ekyo kyennyini kye kyaliwo. Yusufu bwe yali nga wa myaka nga 37, ebirooto ebyo byatandika okutuukirira mu ngeri eyeewuunyisa!—Lub. 37:7, 9, 10; 42:6, 9.
7. Okusinziira ku 1 Peetero 5:10, kiki ekinaatuyamba okugumira ebizibu?
7 Bye tuyiga. Bye tusoma ku Yusufu bitujjukiza nti abantu bangi mu nsi babi era nti tujja kuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ne mukkiriza munnaffe ayinza okutuyisa obubi. Naye bwe tuba nga tutwala Yakuwa ng’Olwazi lwaffe oba Ekiddukiro kyaffe, tetujja kuggwaamu maanyi oba okulekera awo okumuweereza. (Zab. 62:6, 7; soma 1 Peetero 5:10.) Ate era kijjukire nti Yusufu yalina emyaka nga 17 Yakuwa we yamulooseza ebirooto. Ekyo kiraga nti Yakuwa yeesiga abaweereza be abakyali abato. Leero abavubuka bangi balinga Yusufu. Nabo beesiga nnyo Yakuwa. Abamu batuuse n’okusibibwa mu makomera olw’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa.—Zab. 110:3.
ABAKAZI BABIRI BOOLEKAGANA N’ENNAKU EY’AMAANYI
8. Kiki ekyatuuka ku Nawomi ne Luusi?
8 Olw’enjala ey’amaanyi eyali egudde mu Yuda, Nawomi n’ab’omu maka ge baasengukira mu nsi ya Mowaabu. Nga bali eyo, Erimereki bba wa Nawomi yafa n’aleka Nawomi ne batabani baabwe ababiri. Oluvannyuma abavubuka abo baawasa abakazi Abamowaabu, Luusi ne Olupa. Nga wayise emyaka nga kkumi, batabani ba Nawomi abo nabo baafa era tebaaleka baana. (Luus. 1:1-5) Lowooza ku nnaku abakazi abo abasatu gye baalina. Kya lwatu nti Luusi ne Olupa baali basobola okuddamu okufumbirwa. Naye ani yandirabiridde Nawomi eyali akaddiye? Nawomi yennyamira nnyo ne kiba nti lumu yagamba nti: “Temumpita Nawomi. Mumpite Mala, kubanga Omuyinza w’Ebintu Byonna azibuwazza nnyo obulamu bwange.” Nga mwennyamivu nnyo, Nawomi yasalawo okuddayo e Besirekemu, era Luusi yagenda naye.—Luus. 1:7, 18-20.
9. Okusinziira ku Luusi 1:16, 17, 22, Luusi yazzaamu atya Nawomi amaanyi?
9 Kiki ekyayamba Nawomi okwaŋŋanga embeera eyo enzibu? Kwali kwagala okutajjulukuka. Ng’ekyokulabirako, Luusi yalaga Nawomi okwagala okutajjulukuka, bwe yamunywererako. (Soma Luusi 1:16, 17, 22.) Nga bali mu Besirekemu, Luusi yakola n’obunyiikivu okulondereranga emmere ye ne Nawomi gye baalyanga. Ekyo kyaleetera Luusi okumanyibwa ng’omukazi omulungi era omukozi omunyiikivu.—Luus. 3:11; 4:15.
10. Yakuwa yalaga atya okwagala abantu abali mu bwetaavu, gamba nga Nawomi ne Luusi?
10 Yakuwa yawa Abayisirayiri etteeka eryali liraga nti yali afaayo ku bantu abali mu bwetaavu, gamba nga Nawomi ne Luusi. Yagamba abantu be nti tebaalina kukungula mmere eyabanga okumpi n’ensalosalo z’ennimiro. Emmere eyo baalina kugirekeranga abantu abaavu. (Leev. 19:9, 10) N’olwekyo Nawomi ne Luusi kyali tekibeetagisa kusabiriza mmere. Baali basobola okugifuna mu ngeri eyali tebaweebuula.
11-12. Kiki Bowaazi kye yakola ekyaleetera Nawomi ne Luusi essanyu?
11 Nnannyini nnimiro Luusi mwe yalondereranga yali musajja mugagga eyali ayitibwa Bowaazi. Yakwatibwako nnyo olwa Luusi okunywerera ku Nawomi n’olw’okulaga Nawomi okwagala ne kiba nti yasalawo okugula obusika bwabwe era n’awasa ne Luusi. (Luus. 4:9-13) Bowaazi ne Luusi baazaala omwana ayitibwa Obedi, era omwana oyo ye jjajja wa Kabaka Dawudi.—Luus. 4:17.
12 Lowooza ku ssanyu Nawomi lye yalina ng’asitudde Obedi era nga yeebaza Yakuwa olw’omwana oyo! Naye Nawomi ne Luusi bagenda kufuna essanyu erisingawo n’awo. Bwe banaazuukira, bajja kukimanya nti Obedi yafuuka jjajja wa Masiya Eyasuubizibwa, Yesu Kristo!
13. Biki bye tuyiga mu ebyo bye tusoma ku Nawomi ne Luusi?
13 Bye tuyiga. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, tuyinza okuggwaamu amaanyi oluusi ne tutuuka n’okwennyamira. Oboolyawo tuyinza okulaba nga tewali ngeri yonna gye tuyinza kuvvuunukamu bizibu ebyo. Mu biseera ng’ebyo, tusaanidde okwesiga mu bujjuvu Kitaffe ow’omu ggulu era ne tuteeyawula ku bakkiriza bannaffe. Kyo kituufu nti Yakuwa ayinza obutaggyawo kizibu kye tuba tufunye, ng’era bw’ataakomyawo bba wa Nawomi ne batabani be ababiri. Naye ajja kutuyamba okwaŋŋanga ekizibu ekyo, oboolyawo okuyitira mu bikolwa ebiraga okwagala okutajjulukuka bakkiriza bannaffe bye batukolera.—Nge. 17:17.
OMULEEVI EYABULAKO AKATONO OKUGWA
14. Lwaki Omuleevi omu yaggwaamu nnyo amaanyi?
14 Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yali Muleevi. N’olwekyo yalina enkizo ey’ekitalo ey’okuweerezanga mu kifo we baasinzizanga Yakuwa. Wadde kiri kityo, waliwo lwe yaggwaamu amaanyi. Lwaki? Yatandika okukwatirwa obuggya abantu ababi era ab’amalala, si lwa kuba nti yali ayagala okwenyigira mu bikolwa byabwe ebibi naye lwa kuba nti baalabika ng’abali obulungi. (Zab. 73:2-9, 11-14) Baalabika ng’abatalina kye bajula, nga bagagga, balamu bulungi, era nga tebalina kibeeraliikiriza. Okuba nti baali balabika ng’abali obulungi kyamalamu nnyo omuwandiisi wa zabbuli amaanyi n’atuuka n’okugamba nti: “Mazima nteganidde bwereere okukuuma omutima gwange nga mulongoofu, era ne nnaaba engalo zange okulaga nti siriiko musango.” Ekyo kyali kiyinza okumuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa.
15. Okusinziira ku Zabbuli 73:16-19, 22-25, kiki ekyayamba Omuleevi okulekera awo okwennyamira?
15 Soma Zabbuli 73:16-19, 22-25. Omuleevi oyo yayingira “mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa.” Ng’ali eyo, kirabika ng’ali wamu ne banne abaali basinza Yakuwa, yasobola okufumiitiriza obulungi ku mbeera ye n’okusaba Yakuwa amuyambe. N’ekyavaamu, yatandika okukiraba nti endowooza ye teyali ya magezi, era nti yali atandise okukwata ekkubo eryali ligenda okumuggya ku Yakuwa. Era yakiraba nti ababi bali “awali obuseerezi,” era nti bajja ‘kuggwaawo mu ngeri ey’entiisa.’ Okusobola okulekera awo okukwatirwa ababi obuggya n’obutennyamira, Omuleevi oyo yali yeetaaga okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Ekyo bwe yakikola, yaddamu okufuna emirembe n’essanyu. Yagamba nti: “Tewali kirala kyonna kye njagala ku nsi okuggyako [Yakuwa].”
16. Biki bye tuyigira ku Muleevi omu?
16 Bye tuyiga. Ka tuleme kukwatirwanga buggya bantu ababi abalabika ng’abali obulungi. Essanyu lyabwe lya kungulu era lya kaseera buseera; tebajja kubeerawo mirembe gyonna. (Mub. 8:12, 13) Bwe tubakwatirwa obuggya, kituviirako okuggwaamu amaanyi era tuyinza okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. N’olwekyo, bwe weesanga ng’okwatiddwa obuggya abantu ababi abalabika ng’abali obulungi, kola ekyo Omuleevi kye yakola. Kolera ku kubuulirira Katonda kw’atuwa era obeere wamu n‘abo abaweereza Yakuwa. Bw’oba ng’oyagala Yakuwa okusinga ekintu ekirala kyonna, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala. Ate era ojja kusigala mu kkubo erigenda mu ‘bulamu obwa nnamaddala.’—1 Tim. 6:19.
ENSOBI ZA PEETERO ZAAMUMALAMU AMAANYI
17. Biki ebyali bisobola okuleetera Peetero okuggwaamu ennyo amaanyi?
17 Peetero yali musajja ateemotyamotya. Naye oluusi yayogeranga oba yakolanga ebintu nga talowoozezza era oluvannyuma n’abyejjusa. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yagamba abatume be nti yandibonyaabonyezeddwa era n’afa, Peetero yamunenya n’amugamba nti: “Kino tekirikutuukako n’akatono.” (Mat. 16:21-23) Yesu yagolola Peetero. Ekibinja ky’abantu bwe kyajja okukwata Yesu, Peetero yasalako okutu kw’omuddu wa kabona asinga obukulu, era ekyo yakikola tasoose kulowooza. (Yok. 18:10, 11) Ne ku luno Yesu yagolola Peetero. Ate era yeewaana nti abatume abalala bonna ne bwe bandyabulidde Yesu, ye teyandimwabulidde! (Mat. 26:33) Naye Peetero teyali mugumu nnyo nga bwe yali alowooza. Ekiro ekyo yatya nnyo ne yeegaana Mukama we emirundi esatu miramba. Ekyo kyanakuwaza nnyo Peetero “n’afuluma ebweru n’akaaba nnyo.” (Mat. 26:69-75) Ayinza okuba nga yeebuuza obanga Yesu yandimusonyiye.
18. Yesu yayamba atya Peetero okuddamu amaanyi?
18 Naye embeera eyo eyali emalamu amaanyi Peetero teyagikkiriza kumuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa. Oluvannyuma lw’okwesittala yaddamu n’asituka era tumusomako ng’ali wamu n’abatume abalala. (Yok. 21:1-3; Bik. 1:15, 16) Kiki ekyayamba Peetero okuddamu amaanyi? Ekisooka, emabegako Yesu yali asabidde Peetero okukkiriza kwe kuleme kuggwaawo, era yamusabira okukomawo anyweze baganda be. Yakuwa yaddamu essaala ya Yesu eyo. Oluvannyuma Yesu kennyini yalabikira Peetero, kirabika okumuzzaamu amaanyi. (Luk. 22:32; 24:33, 34; 1 Kol. 15:5) Ate era, oluvannyuma lw’abatume okumala ekiro kyonna nga bavuba naye nga tebakwasa kantu, Yesu yabalabikira. Ku olwo Yesu yawa Peetero akakisa okuddamu okukikakasa nti amwagala. Yesu yali asonyiye mukwano gwe oyo era yamukwasa n’obuvunaanyizibwa obulala.—Yok. 21:15-17.
19. Zabbuli 103:13, 14 watuyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’atutunuuliramu nga tukoze ensobi?
19 Bye tuyiga. Engeri Yesu gye yakwatamu Peetero eraga nti Yesu musaasizi nnyo, ate nga Yesu ayoleka engeri za Kitaawe. N’olwekyo bwe tukola ensobi, tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa. Tusaanidde okukijjukira nti Sitaani y’ayagala tulowooze bwe tutyo. N’olwekyo tusaanidde okukijjukiranga nti Yakuwa atwagala nnyo, amanyi bulungi obunafu bwaffe, era mwetegefu okutusonyiwa. Naffe tusaanidde okumukoppa ng’abalala bakoze ebintu ebitulumya.—Soma Zabbuli 103:13, 14.
20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
20 Ebyo bye tusoma ku Yusufu, Nawomi ne Luusi, Omuleevi omu, ne Peetero, bitukakasa nti “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese.” (Zab. 34:18) Oluusi atuleka ne twolekagana n’ebizibu era ne tuwulira nga tuweddemu amaanyi. Naye bw’atuyamba okugumira ebizibu ebyo, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. (1 Peet. 1:6, 7) Mu kitundu ekiddako, tugenda kweyongera okulaba engeri Yakuwa gy’ayambamu abaweereza be abeesigwa ababa baweddemu amaanyi oboolyawo olw’obutali butuukirivu bwabwe oba olw’ebizibu ebirala
OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe
a Yusufu, Nawomi ne Luusi, Omuleevi omu, n’omutume Peetero bonna baayolekagana n’ebizibu ebyabamalamu amaanyi. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yababudaabudamu era n’abazzaamu amaanyi. Era tugenda kulaba kye tuyinza okubayigirako ne kye tuyinza okuyigira ku ngeri Yakuwa gye yababudaabudamu.
b EBIFAANANYI: Nawomi, Luusi, ne Olupa baafuna ennaku ey’amaanyi olw’okufiirwa abaami baabwe. Oluvannyuma Luusi ne Nawomi baasanyukira wamu ne Bowaazi nga Obedi azaaliddwa.