Bayibuli Eyogera Ki ku Kwekuba Ttatu?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli eyogera ku ttatu omulundi gumu gwokka mu Eby’Abaleevi 19:28, awagamba nti: “Temwesalanga misale ku mibiri gyammwe.” Katonda yawa Abayisirayiri etteeka eryo ng’ayagala babeere ba njawulo ku bantu b’amawanga amalala abeeyolangako amannya gaabwe oba obubonero bwa bakatonda baabwe. (Ekyamateeka 14:2) Wadde ng’Abakristaayo tebakyali wansi w’Amateeka agaaweebwa Abayisirayiri, basaanidde okulowooza ku musingi oguli mu tteeka eryo.
Omukristaayo yandyekubye ttatu oba okusiigibwa ekifaananyi ku mubiri?
Ebyawandiikibwa bino wammanga bijja kukuyamba okufuna eky’okuddamu:
‘Abakazi basaanidde okwekolako mu ngeri eweesa ekitiibwa.’ (1 Timoseewo 2:9) Ekyawandiikibwa ekyo kikwata ku bakazi n’abasajja. Tusaanidde okufaayo ku nneewuulira y’abalala nga tetwerowoozaako ffekka.
Abamu beekuba ttatu okuba ab’enjawulo ku balala, ate abalala bazeekuba okulaga nti ba ddembe okukozesa emibiri gyabwe ekyo kyonna kye baba baagala. Kyokka Bayibuli ekubiriza Abakristaayo ‘okuwaayo emibiri gyabwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda, basobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga bakozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza.’ (Abaruumi 12:1) Bw’oba oyagala okwekuba ttatu, sooka okozese ‘obusobozi bwo obw’okulowooza’ olabe ensonga lwaki oyagala okugyekuba. Bwe kiba nti oyagala okugyekuba olw’ekinyumu oba ng’olina abantu b’oyagala okufaanana, kijjukire nti ekiseera kiyinza okutuuka n’oba nga tokyagyagala naye ng’ate tosobola kugyeggyako. Bw’ofumiitiriza nga tonnasalawo ojja kusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Engero 4:7.
“Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.” (Engero 21:5) Ebiseera ebimu abantu banguyiriza okwekuba ttatu nga tebasoose kulowooza ku ngeri gye ziyinza okwonoona enkolagana yaabwe n’abalala oba okubalemesa okufuna emirimu. Ate ttatu ezimu okuziggya ku mubiri kya bulumi ate kitwala ssente nnyingi. Abanoonyereza wamu n’abo abakola bizineesi ez’okuggya ttatu ku mibiri gy’abantu bagamba nti abantu bangi bejjusa ekyabaleetera okwekuba ttatu.