-
Olubereberye 39:7-9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n’atandika okusuuliza Yusufu eriiso era n’amugambanga nti: “Weebake nange.” 8 Naye Yusufu n’agaananga era n’agambanga muka mukama we nti: “Mukama wange talina kintu kye kyonna kye yeeraliikirira mu nnyumba kubanga nze wendi, era ankwasizza byonna by’alina. 9 Tewali ansinga buyinza mu nnyumba muno era tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”+
-
-
Ekyamateeka 5:18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 “‘Toyendanga.+
-
-
Engero 6:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Omuntu yenna ayenda ku mukazi talina magezi;
Oyo akikola azikiriza obulamu bwe.+
-