-
Okuva 39:8-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Era yakola eky’omu kifuba+ nga kitungiddwako amasiira. Yakikola mu ngeri y’emu nga efodi, mu wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa.+ 9 Kyali kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya nga kizingiddwamu. Baakikola nga bwe kiba kizingiddwamu, obuwanvu buba oluta lw’engalo lumu,* n’obugazi oluta lw’engalo lumu. 10 Baakiteekako amayinja nga gali mu nnyiriri nnya. Olunyiriri olusooka lwaliko yodemu, topazi, ne zumaliidi. 11 Olunyiriri olw’okubiri lwaliko nofeki, safiro, ne yasepi. 12 Olunyiriri olw’okusatu lwaliko lesemi, sevo, ne amesusito. 13 Olunyiriri olw’okuna lwaliko kirisoliti, sokamu, ne yasipero. Amayinja ago gaateekebwa mu bufuleemu obwa zzaabu. 14 Amayinja gaali 12 ng’amannya g’abaana ba Isirayiri bwe gali. Amannya gaayolebwa nga bwe bayola akabonero ku kintu,* nga buli limu likiikirira ekimu ku bika 12.
-