-
Olubereberye 19:5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Ne bayita Lutti nga bwe bamugamba nti: “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino baluwa? Bafulumye twegatte nabo.”+
-
-
Eby’Abaleevi 18:22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 “‘Teweegattanga na musajja munno nga bwe weegatta n’omukazi.+ Ekyo kikolwa kya muzizo.
-
-
Ekyabalamuzi 19:22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Bwe baali nga basanyusa emitima gyabwe, abasajja b’omu kibuga abatalina mugaso ne beetooloola ennyumba, ne bakonkona nnyo oluggi; ne bagamba omusajja omukadde nnannyini nnyumba nti: “Fulumya omusajja azze mu nnyumba yo twegatte naye.”+
-
-
Abaruumi 1:26, 27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Katonda kyeyava abaleka okukola eby’obugwenyufu+ bye baali baagala ennyo, kubanga abakazi baabwe baakyusa ekyo emibiri gyabwe kye gyatonderwa ne bagikozesa ekyo kye gitaatonderwa.+ 27 N’abasajja nabo baalekayo ekikolwa eky’omu butonde eky’okwegatta n’abakazi, ne babugujja mu kwegomba okw’okwegatta okutasaana, abasajja n’abasajja,+ nga bakola eby’obugwenyufu era ne basasulwa mu bujjuvu ekyo ekigwanira okwonoona kwabwe.+
-