8 Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga; byali bijjudde amaaso ku njuyi zonna ne munda.+ Era emisana n’ekiro awatali kuwummula nga bigamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa+ Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaliwo, aliwo, era agenda okujja.”+