-
Okubala 8:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 “Bino bikwata ku Baleevi: Anaabanga awezezza emyaka 25 n’okudda waggulu, aneegattanga ku kibinja ky’abo abaweereza ku weema ey’okusisinkaniramu.
-
-
Okubala 18:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Sembeza baganda bo ab’ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, bakwegatteko era bakuweerezenga+ ggwe ne batabani bo, mu maaso ga weema ey’Obujulirwa.+ 3 Banaatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe balina gy’oli era n’obwo obukwata ku weema yonna.+ Kyokka tebasembereranga ebintu by’omu kifo ekitukuvu n’ekyoto baleme okufa era nammwe muleme okufa.+
-
-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 23:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Ate era baatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe baalina ku weema ey’okusisinkaniramu, ku kifo ekitukuvu, n’eri baganda baabwe batabani ba Alooni mu buweereza bw’oku nnyumba ya Yakuwa.
-