12 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: “Olw’okuba temuntaddeemu bwesige okuntukuliza mu maaso g’Abayisirayiri, temujja kutwala kibiina kino mu nsi gye ŋŋenda okubawa.”+ 13 Gano ge mazzi g’e Meriba+ Abayisirayiri gye baayombeseza Yakuwa, era n’atukuzibwa mu bo.