-
Okubala 18:21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 “Era laba, abaana ba Leevi mbawadde buli kimu eky’ekkumi+ mu Isirayiri ng’obusika olw’emirimu gye bakola ku weema ey’okusisinkaniramu.
-
-
Nekkemiya 10:38, 39Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
38 Kabona, omwana wa Alooni, anaabeeranga n’Abaleevi bwe banaabanga baweebwa ekimu eky’ekkumi; Abaleevi banaaleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe,+ mu bisenge* eby’etterekero, ekimu eky’ekkumi okuva ku kimu eky’ekkumi. 39 Mu bisenge* ebyo Abayisirayiri n’abaana b’Abaleevi mwe banaaleetanga ebiweebwayo+ eby’emmere ey’empeke, n’omwenge omusu, n’amafuta,+ era eyo y’ebeera ebikozesebwa mu kifo ekitukuvu, ne bakabona ababa baweereza, n’abakuumi b’oku miryango, n’abayimbi. Tetujja kulagajjaliranga nnyumba ya Katonda waffe.+
-
-
Malaki 3:8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “Omuntu obuntu asobola okunyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga.”
Era mugamba nti: “Tukunyaga tutya?”
“Munnyaga ebitundu eby’ekimu eky’ekkumi n’ebintu ebimpeebwa.
-