3 Bwe waayitawo ekiseera, Erimereki bba wa Nawomi n’afa, Nawomi n’asigala ne batabani be ababiri. 4 Oluvannyuma abasajja abo baawasa abakazi Abamowaabu. Omu yali ayitibwa Olupa ate omulala ng’ayitibwa Luusi,+ era baabeera eyo okumala emyaka nga kkumi.