3 Dawudi n’abasajja be ne babeera ne Akisi e Gaasi, buli omu ng’ali n’ab’omu maka ge. Dawudi yali ne bakazi be bombi, Akinowamu+ ow’e Yezuleeri ne Abbigayiri+ Omukalumeeri, eyali mukyala wa Nabbali.
2 Mu kiseera ekyo nga Dawudi ali e Kebbulooni,+ yazaala abaana ab’obulenzi. Omwana we omubereberye yali Amunoni+ era nnyina ye yali Akinowamu+ ow’e Yezuleeri.
3Bano be baana ba Dawudi ab’obulenzi abaamuzaalirwa mu Kebbulooni:+ omubereberye yali Amunoni+ era nnyina ye yali Akinowamu+ ow’e Yezuleeri; ow’okubiri yali Danyeri era nnyina ye yali Abbigayiri+ Omukalumeeri;