-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 17:23-27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Kaakano Ai Yakuwa, ekyo ky’osuubizza omuweereza wo n’ennyumba ye ka kibeere bwe kityo emirembe n’emirembe, era okole nga bw’osuubizza.+ 24 Erinnya lyo ka libeerengawo era ligulumizibwe+ emirembe n’emirembe, abantu balyoke bagambe nti, ‘Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, ye Katonda eri Isirayiri,’ era ennyumba ya Dawudi omuweereza wo k’enywezebwe mu maaso go.+ 25 Kubanga ggwe Katonda wange obikkulidde omuweereza wo ekigendererwa kyo eky’okumuzimbira ennyumba.* Eno ye nsonga lwaki omuweereza wo akusaba nga mugumu. 26 Ai Yakuwa, ye ggwe Katonda ow’amazima, era osuubizza omuweereza wo ebintu bino ebirungi. 27 N’olwekyo wa ennyumba y’omuweereza wo omukisa, era k’ebeerewo emirembe n’emirembe mu maaso go; kubanga Ai Yakuwa ggwe ogiwadde omukisa era ejja kubeeranga n’omukisa emirembe n’emirembe.”
-