-
1 Samwiri 18:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ku lunaku olwaddirira, omwoyo omubi okuva eri Katonda gwajja ku Sawulo,+ n’atandika okweyisa mu ngeri eteri ya bulijjo* mu nnyumba nga Dawudi akuba entongooli+ nga bwe yakolanga. Sawulo yali akutte effumu mu mukono gwe,+ 11 era yalikasuka+ ng’agamba nti: ‘Nja kufumita Dawudi effumu limuyitemu likwate ekisenge!’ Yakasukira Dawudi effumu emirundi ebiri, naye nga Dawudi alyewoma.
-
-
1 Samwiri 19:10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Sawulo n’agezaako okufumita Dawudi effumu limuyitemu likwate ekisenge, naye n’alyewoma ne likwasa ekisenge. Awo Dawudi n’adduka ekiro ekyo n’agenda.
-