-
2 Samwiri 7:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Kabaka bwe yali ng’akkalidde mu nnyumba ye*+ nga Yakuwa amuwadde ekiwummulo, nga takyatawaanyizibwa balabe be bonna abaali bamwetoolodde, 2 kabaka n’agamba nnabbi Nasani+ nti: “Laba, nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolokyo+ naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima eri mu weema.”+ 3 Nasani n’agamba kabaka nti: “Genda okole kyonna ekiri mu mutima gwo, kubanga Yakuwa ali naawe.”+
-