-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 9:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Ebintu byonna Kabaka Sulemaani bye yanywerangamu byali bya zzaabu, n’ebintu byonna eby’omu Nnyumba ey’Ekibira kya Lebanooni byali bya zzaabu omulongoofu. Tewaaliwo kintu kyonna kya ffeeza, kubanga mu kiseera kya Sulemaani ffeeza yali tatwalibwa ng’ekintu eky’omuwendo.+ 21 Ebyombo bya kabaka byagendanga e Talusiisi+ nga bivugibwa abaweereza ba Kiramu.+ Ebyombo by’e Talusiisi byajjanga omulundi gumu buli luvannyuma lwa myaka esatu nga byetisse zzaabu, ffeeza, amasanga,+ enkima, n’ennyonyi muzinge.
-