-
Okuva 15:23-25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Bwe baatuuka e Mala,*+ tebaasobola kunywa mazzi gaayo olw’okuba gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Mala. 24 Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Musa+ nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?” 25 Awo Musa n’akaabirira Yakuwa,+ Yakuwa n’amulaga omuti. Bwe yagusuula mu mazzi, amazzi ne galongooka.
Eyo gye yabaweera etteeka era n’ekisinziirwako okusala emisango, era eyo gye yabagezeseza.+
-
-
2 Bassekabaka 2:19-21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Nga wayiseewo ekiseera, abasajja b’omu kibuga baagamba Erisa nti: “Mukama waffe, ekibuga kino we kiri walungi,+ nga naawe bw’olaba, naye amazzi mabi, n’ensi ŋŋumba.”* 20 N’abagamba nti: “Mundeetere akabakuli akapya mukateekemu omunnyo.” Ne bakamuleetera. 21 N’agenda ku nsulo y’amazzi n’agiyiwamu omunnyo+ n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Amazzi gano ngalongoosezza. Tegakyaddamu kutta bantu wadde okuleetera abakazi okuba abagumba.’”*
-