-
1 Samwiri 9:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Endogoyi* za Kiisi kitaawe wa Sawulo bwe zaabula, Kiisi n’agamba Sawulo mutabani we nti: “Genda n’omu ku baweereza munoonye endogoyi.” 4 Awo ne bayita mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi ne mu kitundu ky’e Salisa, ne batazisangayo. Baayita mu kitundu ky’e Saalimu naye tezaaliyo. Ne bayita ne mu kitundu ky’Ababenyamini naye ne batazisangayo.
-