14 Bwe baali baggyayo ssente ezaali zireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa,+ Kirukiya kabona n’azuula ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa+ agaaweebwa okuyitira mu Musa. + 15 Kirukiya n’agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde ekitabo ky’Amateeka mu nnyumba ya Yakuwa.” Awo Kirukiya n’akiwa Safani.