24 Tovunnamiranga bakatonda baabwe era tosendebwasendebwanga kubaweereza, era tokoppanga bikolwa byabwe.+ Naye onoobazikiriza era n’omenyaamenya empagi zaabwe ze basinza.+
3 Mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bwe, ng’akyali mulenzi muto, yatandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe;+ mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya mu Yuda ne Yerusaalemi+ ebifo ebigulumivu+ n’ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole+ n’ebifaananyi eby’ekyuma.*