-
Okubala 1:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Mubale+ ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri* okusinziira ku mpya zaabwe, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, nga muwandiika amannya g’abasajja bonna omu ku omu. 3 Ggwe ne Alooni muwandiike abo bonna abasobola okuweereza mu ggye mu Isirayiri, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ okusinziira ku bibinja byabwe.*
-
-
2 Samwiri 24:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Yowaabu n’awa kabaka omuwendo gw’abantu abaali babaliddwa; Abayisirayiri baali abasajja abazira 800,000 abaali bakwata ekitala, ate abasajja ba Yuda baali 500,000.+
-