-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:10-13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw’okusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bwa Asa. 11 Ku lunaku olwo ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa okuva ku munyago gwe baali baleese, ente 700 n’endiga 7,000. 12 Ate era baakola endagaano okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe n’omutima gwabwe gwonna n’obulamu bwabwe bwonna.+ 13 Omuntu yenna atandinoonyezza Yakuwa Katonda wa Isirayiri yali wa kuttibwa, k’abe muto oba mukulu,* musajja oba mukazi.+
-