Zabbuli 1:2, 3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa,+Era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.+ 3 Anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi,Ogubala ebibala mu kiseera kyagwo,Era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.+ Engero 3:1, 2 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 Mwana wange teweerabiranga bye nkuyigiriza,*Era omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange, 2 Olyoke owangaale emyaka mingi,Era obe n’emirembe.+ Isaaya 32:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe,+Era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.+ Isaaya 48:18 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 18 Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange!+ Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga+ N’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.+
2 Naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa,+Era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.+ 3 Anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi,Ogubala ebibala mu kiseera kyagwo,Era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.+
3 Mwana wange teweerabiranga bye nkuyigiriza,*Era omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange, 2 Olyoke owangaale emyaka mingi,Era obe n’emirembe.+
17 Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe,+Era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.+
18 Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange!+ Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga+ N’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.+