-
Makko 15:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Ne bamukomerera ku muti era ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu nga babikubira akalulu okulaba buli omu ky’anaatwala.+
-
-
Yokaana 19:23, 24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Abasirikale bwe baamala okukomerera Yesu ku muti, ne batwala ebyambalo bye eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena, buli musirikale n’atwalako; n’ekyambalo kye eky’omunda nakyo ne bakitwala. Naye kyo ekyambalo eky’omunda kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu. 24 Awo ne bagambagana nti: “Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.”+ Kino kyali kityo ekyawandiikibwa kisobole okutuukirira ekigamba nti: “Baagabana ebyambalo byange, era engoye zange baazikubira akalulu.”+ Ebyo byennyini abasirikale bye baakola.
-