-
1 Bassekabaka 2:22-24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Awo Kabaka Sulemaani n’agamba nnyina nti: “Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunamu? Musabire nno n’obwakabaka,+ kubanga ye mukulu wange,+ era Abiyasaali kabona ne Yowaabu+ mutabani wa Zeruyiya+ bamuwagira.”
23 Awo Kabaka Sulemaani n’alayira mu linnya lya Yakuwa nti: “Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange, Adoniya bw’atattibwe olw’ekyo ky’asabye. 24 Ate era nga Yakuwa bw’ali omulamu antuuzizza n’annyweza+ ku ntebe y’obwakabaka bwa kitange Dawudi era anzimbidde ennyumba*+ nga bwe yasuubiza, Adoniya agenda kuttibwa+ olwa leero.”
-