-
Ezeekyeri 8:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Era abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, nga ne Yaazaniya mutabani wa Safani+ ayimiridde wakati mu bo. Buli omu yali akutte ekyoterezo mu mukono gwe, ng’omukka ogw’obubaani ogw’akaloosa gunyooka.+ 12 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba abakadde b’ennyumba ya Isirayiri kye bakola mu kizikiza, buli omu mu kisenge eky’omunda omuli ebifaananyi by’asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Yakuwa tatulaba. Yakuwa alese ensi.’”+
-