-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Keezeekiya yakola bw’atyo mu Yuda yonna, era yeeyongera okukola ebirungi era ebituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda we era yali mwesigwa gy’ali. 21 Buli kye yatandika okukola okusobola okunoonya Katonda we, ka kibe nga kyali kikwata ku buweereza obw’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima+ oba ku Mateeka n’ebiragiro, yakikola n’omutima gwe gwonna, era yatuuka ku buwanguzi.
-