-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:10-12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ku ntandikwa y’omwaka, Kabaka Nebukadduneeza yatuma abasajja be bamutwale e Babulooni+ era batwale n’ebintu eby’omuwendo eby’omu nnyumba ya Yakuwa.+ Era yaddira Zeddeekiya muganda wa kitaawe n’amufuula kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.+
11 Zeddeekiya+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 21 era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11.+ 12 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda we. Teyeetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya,+ eyayogeranga nga Yakuwa bwe yamulagiranga.
-