-
Yeremiya 21:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Ekigambo okuva eri Yakuwa kyajjira Yeremiya, Kabaka Zeddeekiya+ bwe yamutumira Pasukuli+ mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya+ kabona mutabani wa Maaseya, ng’amugamba nti: 2 “Nkwegayiridde, weebuuze ku Yakuwa ku lwaffe, kubanga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni atulwanyisa.+ Oboolyawo Yakuwa anaatukolera ekimu ku bikolwa bye eby’ekitalo, Nebukadduneeza n’atuvaako.”+
-
-
Yeremiya 29:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, “Olw’okuba waweereza amabaluwa mu linnya lyo eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi, n’eri Zeffaniya+ kabona mutabani wa Maaseya, n’eri bakabona bonna, ng’ogamba nti,
-