-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 33:5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Yazimbira eggye lyonna ery’oku ggulu ebyoto mu mpya bbiri ez’ennyumba ya Yakuwa.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Abakulu bonna aba bakabona n’abantu baayitiriza obutaba beesigwa; baakola eby’omuzizo byonna eby’amawanga, era baayonoona ennyumba ya Yakuwa+ gye yatukuza mu Yerusaalemi.
-
-
Ezeekyeri 8:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ne nnyingira ne ndaba ebifaananyi by’ebintu ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo,+ era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza* eby’ennyumba ya Isirayiri;+ byali byoleddwa ku kisenge kyonna. 11 Era abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, nga ne Yaazaniya mutabani wa Safani+ ayimiridde wakati mu bo. Buli omu yali akutte ekyoterezo mu mukono gwe, ng’omukka ogw’obubaani ogw’akaloosa gunyooka.+
-