-
Ekyamateeka 30:8-10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “Era oliddamu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, era n’okwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero. 9 Yakuwa Katonda wo alikuwa ebintu bingi okuva mu mirimu gyonna egy’emikono gyo,+ n’ayaza abaana bo n’ensolo zo n’ebibala by’ettaka lyo, kubanga Yakuwa aliddamu okukusanyukira n’akukolera ebirungi nga bwe yasanyukira bajjajjaabo.+ 10 Kubanga oliwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’okwata ebiragiro bye n’amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky’Amateeka, era olikomawo eri Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna.+
-
-
Ezeekyeri 36:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Nja kubateekamu omwoyo gwange; nja kubaleetera okutambulira mu mateeka gange,+ era mujja kukwata ebiragiro byange era mubikolereko.
-