-
Eby’Abaleevi 5:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Era anaaleetanga eri Yakuwa ekiweebwayo olw’omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze,+ kwe kugamba, anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi ento enkazi, ng’ekiweebwayo olw’ekibi, era kabona anaatangiriranga ekibi kye.
-
-
Eby’Abaleevi 7:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo olw’omusango:+ Kitukuvu nnyo.
-
-
Ezeekyeri 42:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Awo n’aŋŋamba nti: “Ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikakkono n’ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikaddyo ebiriraanye ekibangirizi,+ bye bisenge ebiriirwamu ebitukuvu bakabona abagenda mu maaso ga Yakuwa mwe baliira ebiweebwayo ebisinga obutukuvu.+ Omwo mwe bateeka ebiweebwayo ebisinga obutukuvu, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga kifo kitukuvu.+
-