-
Zabbuli 22:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Ensi yonna ejja kujjukira edde eri Yakuwa.
Ebika byonna eby’omu mawanga bijja kuvunnama mu maaso go.+
-
-
Isaaya 2:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa
Lulinywezebwa waggulu w’ensozi,+
Era luligulumizibwa okusinga obusozi,
Era amawanga gonna galyekuluumululira okwo.+
3 Abantu okuva mu mawanga mangi baligenda ne bagamba nti:
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa,
Ku nnyumba ya Katonda wa Yakobo.+
Anaatuyigiriza amakubo ge,
Era tunaatambulira mu mpenda ze.”+
-