-
Nekkemiya 8:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Era Yesuwa, Bani, Serebiya,+ Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Maaseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi,+ Kanani, ne Peraya, abaali Abaleevi, baali bannyonnyola abantu Amateeka+ ng’abantu bayimiridde. 8 Ne beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.+
-
-
Ezeekyeri 44:23, 24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 “‘Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo eriwo wakati w’ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo, n’enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.+ 24 Banaabanga balamuzi,+ era banaasalanga emisango nga bagoberera amateeka gange.+ Banaakwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange ebikwata ku mbaga zange zonna,+ era banaatukuzanga ssabbiiti zange.
-