-
Lukka 15:3-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Awo n’abawa ekyokulabirako kino ng’agamba nti: 4 “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga 100, emu n’ebula, ataleka 99 ku ttale n’agenda okunoonya eyo eba ebuze, okutuusa lw’agizuula?+ 5 Bw’agizuula, agiteeka ku bibegaabega bye n’asanyuka. 6 Bw’atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyali ebuze.’+ 7 Mbagamba nti, ne mu ggulu ebaayo essanyu lingi olw’omwonoonyi omu eyeenenya+ okusinga olw’abatuukirivu 99 abateetaaga kwenenya.
-