-
Makko 11:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi, nga batuuse e Besufaage era n’e Bessaniya+ ku Lusozi olw’Emizeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri+ 2 n’abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangu ddala nga mwakakayingiramu, mujja kulaba omwana gw’endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu yenna. Mugusumulule muguleete. 3 Omuntu yenna bw’ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ mumugambe nti, ‘Mukama waffe agwetaaga, era gujja kukomezebwawo mangu.’”
-
-
Lukka 19:28-31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
28 Bwe yamala okwogera ebyo, ne yeeyongerayo n’agenda e Yerusaalemi. 29 Bwe yali anaatera okutuuka e Besufaage era n’e Bessaniya ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw’Emizeyituuni,+ n’atuma abayigirizwa be babiri,+ 30 n’abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era bwe munaakayingiramu, mujja kulaba omwana gw’endogoyi ogusibiddwa oguteebagalwangako muntu yenna. Mugusumulule muguleete. 31 Naye omuntu yenna bw’ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumugambe nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’”
-