-
Makko 14:37-42Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
37 Awo n’akomawo n’abasanga nga beebase, n’agamba Peetero nti: “Simooni, weebase? Tosobodde kusigala ng’otunula wadde essaawa emu bw’eti?+ 38 Musigale nga mutunula era musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.+ Kyo kituufu omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”+ 39 N’addayo nate, n’asaba ng’ayogera ebigambo bye bimu.+ 40 N’akomawo nate n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaali gabazitoye, ne batamanya kya kumuddamu. 41 N’akomawo omulundi ogw’okusatu n’abagamba nti: “Mu kiseera nga kino mwebase era muwummudde! Ekyo kimala! Essaawa etuuse!+ Laba! Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’aboonoonyi. 42 Musituke tugende. Laba! Andyamu olukwe atuuse.”+
-
-
Lukka 22:45Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
45 Bwe yamala okusaba, n’agenda abayigirizwa be we baali, n’abasanga nga beebase, nga baweddemu amaanyi olw’ennaku.+
-