38 Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,+ 39 era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.+ N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.