-
Matayo 15:32-38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Abantu bano mbasaasira,+ kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange, naye nga tebalina kya kulya; era saagala kubasiibula nga tebalina kye balidde. Bayinza okugwa ku kkubo.”+ 33 Naye abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mu kifo kino ekyesudde, tunaggya wa emigaati egimala okukkusa abantu bano bonna?”+ 34 Yesu n’abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu, era n’obwennyanja butono.” 35 Awo oluvannyuma lw’okugamba abantu okutuula wansi, 36 Yesu yakwata emigaati omusanvu n’obwennyanja, ne yeebaza, n’abimenyamu, n’abiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne babigabira abantu.+ 37 Bonna ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwafikkawo ne bajjuza ebisero ebinene musanvu.+ 38 Abo abaalya baali abasajja 4,000 nga tobaliddeeko bakazi na baana.
-