-
Matayo 26:2-5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Mukimanyi nti ebulayo ennaku bbiri embaga ey’Okuyitako etuuke,+ era Omwana w’omuntu agenda kuweebwayo akomererwe ku muti.”+
3 Awo bakabona abakulu n’abakadde ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa kabona asinga obukulu ayitibwa Kayaafa,+ 4 ne bateesa+ ku ngeri gye bayinza okukwatamu Yesu mu lukujjukujju, bamutte. 5 Naye ne bagamba nti: “Tetumukwata ku lunaku lwa mbaga kubanga abantu bayinza okwegugunga.”
-