-
Matayo 26:47-51Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
47 Bwe yali akyayogera, laba! Yuda, omu ku Kkumi n’Ababiri, n’ajja n’ekibinja ky’abantu nga balina ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakadde.+
48 Oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero, ng’agamba nti: “Gwe nnaanywegera nga y’oyo; mumukwate.” 49 Awo n’ajja butereevu awali Yesu, n’amugamba nti: “Labbi, emirembe gibe naawe!” n’amunywegera. 50 Naye Yesu n’amugamba nti: “Kiki ekikuleese?”+ Awo ne bajja ne bakwata Yesu ne bamutwala. 51 Naye, omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’atema omuddu+ wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu.
-
-
Lukka 22:47-51Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
47 Bwe yali akyayogera, laba! ekibiina ky’abantu ne kijja, nga kikulembeddwa Yuda, omu ku Kkumi n’Ababiri, era n’ajja awaali Yesu okumunywegera.+ 48 Naye Yesu n’amugamba nti: “Yuda, Omwana w’omuntu omulyamu olukwe ng’omunywegera?” 49 Abo abaali naye bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tukozese ebitala byaffe?” 50 Omu ku bo n’akozesa ekitala kye yalina n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu okwa ddyo.+ 51 Naye Yesu n’agamba nti: “Mukome ku ekyo.” N’amukwata ku kutu, n’amuwonya.
-