-
Matayo 26:69-75Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
69 Awo Peetero bwe yali atudde ebweru mu luggya, omuwala omuweereza n’agenda w’ali, n’amugamba nti: “Naawe wabadde ne Yesu Omugaliraaya!”+ 70 Naye ne yeegaanira mu maaso gaabwe bonna, ng’agamba nti: “Ky’oyogerako sikimanyi.” 71 Bwe yafuluma n’agenda ku mulyango oguyingira mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abaali awo nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu Omunnazaaleesi.”+ 72 N’addamu ne yeegaana ng’alayira nti: “Omusajja oyo simumanyi!” 73 Oluvannyuma lw’akaseera katono, abo abaali bayimiridde awo ne basembera ne bagamba Peetero nti: “Mazima ddala naawe oli omu ku bo kubanga enjogera yo ekiraga.” 74 Naye n’atandika okukolima n’okulayira nti: “Omusajja oyo simumanyi.” Amangu ago enkoko n’ekookolima. 75 Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yamugamba nti: “Enkoko bw’eneeba tennakookolima, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ Awo n’afuluma ebweru n’akaaba nnyo.
-
-
Lukka 22:55-62Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
55 Bwe baakuma omuliro wakati mu luggya ne batuula wamu, Peetero naye n’atuula wamu nabo.+ 56 Naye omuwala omu omuweereza bwe yamulaba ng’atudde awali ekitangaala ky’omuliro, n’amwekaliriza n’agamba nti: “N’omusajja ono yali wamu naye.” 57 Naye Peetero ne yeegaana ng’agamba nti: “Simumanyi.” 58 Nga wayiseewo akaseera katono omuntu omulala yamulaba, n’agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n’agamba nti: “Siri omu ku bo.”+ 59 Bwe waayitawo essaawa ng’emu, omuntu omulala n’alumiriza nnyo ng’agamba nti: “Mazima ddala omusajja ono yali naye kubanga Mugaliraaya!” 60 Naye Peetero n’agamba nti: “Musajja ggwe, simanyi by’oyogera.” Bwe yali akyayogera, amangu ago enkoko n’ekookolima. 61 Awo Mukama waffe n’akyuka, n’atunuulira Peetero, Peetero n’ajjukira Mukama waffe bye yali amugambye nti: “Enkoko bw’eneeba tennakookolima leero, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ 62 N’afuluma wabweru, n’akaaba nnyo.
-
-
Yokaana 18:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde awo ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti: “Naawe toli omu ku bayigirizwa be?” Ne yeegaana n’agamba nti: “Siri omu ku bo.”+ 26 Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu eyalina oluganda ku musajja Peetero gwe yali atemyeeko okutu+ n’amugamba nti: “Saakulabye ng’oli naye mu nnimiro?”
-