-
Matayo 12:9-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Bwe yava mu kifo ekyo, yagenda mu kkuŋŋaaniro lyabwe, 10 era waaliwo omusajja eyalina omukono ogwakala!*+ Olw’okwagala okubaako kye bamuvunaana, ne bamubuuza nti, “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti?”+ 11 N’abagamba nti: “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga emu n’egwa mu kinnya ku Ssabbiiti, atagiggyaamu?+ 12 Omuntu si wa muwendo nnyo okusinga endiga? N’olwekyo, kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi ku Ssabbiiti.” 13 Awo n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola, ne guwona, ne guba nga guli omulala. 14 Abafalisaayo ne bafuluma era ne beekobaana okumutta.
-
-
Lukka 6:6-11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Ku ssabbiiti endala,+ yayingira mu kkuŋŋaaniro n’atandika okuyigiriza. Era eyo waaliyo omusajja eyalina omukono ogwa ddyo ogwakala.*+ 7 Abawandiisi n’Abafalisaayo baali beekaliriza Yesu okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti basobole okumuvunaana. 8 Kyokka yamanya endowooza yaabwe,+ era n’agamba omusajja eyalina omukono ogwakala* nti: “Situka oyimirire mu makkati.” N’asituka n’ayimirira awo. 9 Awo Yesu n’abagamba nti: “Ka mbabuuze, Ku Ssabbiiti kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi oba ekibi, okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”+ 10 Bwe yamala okubeebulunguluza amaaso, n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona. 11 Naye ne basunguwala nnyo, era ne batandika okuteesa ku kye banaakola Yesu.
-