-
Makko 6:17-20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Kubanga Kerode yali yalagira Yokaana akwatibwe era asibibwe mu kkomera olwa Kerodiya, muka muganda we Firipo. Kerode yali awasizza Kerodiya+ 18 era Yokaana yamugambanga nti: “Tekikkirizibwa mu mateeka kweddiza muka muganda wo.”+ 19 Kerodiya yalina empalana ku Yokaana era yali ayagala kumutta, kyokka nga talina bw’akikola. 20 Kerode yali atya Yokaana olw’okuba yali musajja mutuukirivu era mutukuvu,+ era ng’afuba okulaba nti tatuukibwako kabi. Buli lwe yawuliranga Yokaana by’ayogera, yasoberwanga n’aba nga tamanyi kya kukola, naye era yeeyongera okumuwulirizanga n’essanyu.
-