-
Matayo 4:1-4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Awo omwoyo ne gutwala Yesu mu ddungu okukemebwa+ Omulyolyomi.+ 2 Bwe yamala okusiibira ennaku 40, enjala n’emuluma. 3 Omukemi+ n’ajja n’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” 4 Yesu n’amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’”*+
-